Bya ALICE NAMUTEBI
LOODI mmeeya Erias Lukwago ali mu kattu olw'okweyimirira omukyala mu kkooti kyokka n'adduka nga kati gavumenti eyagala aliwe obukadde 50 oba okusibwa emyaka 2 singa alemererwa okumukomyawo mu kkooti.
Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw'okusabira FDC ng'alumba gavumenti ye yadduka mu ggwanga ku misango gy'okufera Omuchina ssente obukadde 240. Lukwago ye yamweyimirira era kati y'amuleetedde obuzibu.
Lukwago eggulo ng'ayita mu looya we Nathan Mpenja yategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi nti bamuggyeko obuvunaanyizibwa bw'okweyimirira Katebaralwe kubanga kkooti ya Buganda Road bwe yali emuddiza paasipooti ye tebasooka kumwebuzaako ng'ate bakimanyi bulungi nti ye yamweyimirira.
Kkooti ya Buganda Road bwe yali ekkiriza Katebaralwe okweyimirirwa yaleeta Lukwago ng'omujulizi we era omulamuzi James Ereemye n'alagira paasipooti ye agireke mu kkooti era ng'ajja kusasula obukadde 50 ssinga takomawo mu kkooti.
Oluvannyuma yagimuddiza ng'amutegeezezza nti agenda Bulaaya kujjanjabibwa naye okuva 2017 okutuusa kati takomangawo.
Lukwago agamba nti kkooti okumussaako akakwakkulizo ako tebuba bwenkanya kubanga teyaliiwo nga bamuddiza paasipooti era kkooti teyasooka kumwebuuzaako oba nga akkiriziganya n'ekyokumuddiza paasipooti.
Agamba nti bwe baddiza Sandra paasipooti nga tebasoose kumwebuuzaako (ye Lukwago) kitegeeza nti obukwakkulizo bwe baali bakkiriziganyizzaako ne kkooti buba bukyuse era guno teguba musango gwe kubanga talina ngeri gy'asobola kunoonyaamu Sandra kubanga teyategeera ku kugenda kwe.
Kyokka looya wa gavumenti Jonathan Muwaganya agamba nti Lukwago looya era amanyi amateeka ne kye kitegeeza okweyimirira omuntu n'obuzibu obuyinza okuvaamu ssinga gwe weeyimiridde agaana okukomawo mu kkooti.
Agamba nti Lukwago yategeeza kkooti nti omuntu gw'agenda okweyimirira amumanyi bulungi era asobola okumulagira okukomawo mu kkooti ssinga eba emwetaaga era kati alina okutuukiriza bye yeeyama mu maaso g'omulamuzi.
Yasabye omulamuzi alagire Lukwago agondere ebiragiro bya kkooti akomyewo Sandra gwe yeeyimirira oba aliwe ssente obukadde 50 oba okusibwa emyaka 2.
Kkooti yaakuwa ensala yaayo nga November 10, 2019.