TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkuba y'amataba ebbomodde ekkubo entambula n'esannyalala e Buloba - Nsangi

Enkuba y'amataba ebbomodde ekkubo entambula n'esannyalala e Buloba - Nsangi

Added 16th October 2019

EKKUBO eriva e Buloba okugenda e Nsangi eryafiiriddemu omuntu liggaddwa, abeebigere ne piki okuyitawo olina kusooka kusasula 2000 ez’okukwebagajja.

Bya KIZITO MUSOKE ne  JOANITA NANGONZI

EKKUBO eriva e Buloba okugenda e Nsangi  eryafiiriddemu omuntu liggaddwa, abeebigere ne piki okuyitawo olina kusooka kusasula 2000 ez'okukwebagajja.  

Embeera y'ekkubo lino yayonooneka ku Lwokusatu ekiro nga  October 09,2019 emmotoka ekika kya ISUZU eyali etisse abasuubuzi b'ebibala nga bagenda e Nsangi bwe yagwa mu kinnya ekyali kibomose mu kkubo wakati.

Abasuubuzi bonna baagwa mu mazzi, era omuwala Jamirah Nakamya 19, n'afiiramu. Omulambo gwa Nakamya gwasooka kubula, oluvannyuma ne gulabika nga wayise ennaku ssatu.

Abdu Ssenkumba ssentebe wa L.C owa Buloba yagambye nti bwe baafuna entiisa baasalawo okuzibira ddala ekkubo lyonna kuba kyali kyeraze nti lyabulabe. Awaali wabomose baasalawo okugaziyaawo kuba abalala baali basobola okufunirawo obuzibu nga tebategedde.

Mu kiseera kino tewakyali mmotoka yonna esala era emmotoka zirina kuyita Busega ewala okusobola okugwa ku lye Masaka.

Ow'ebigere okuyitawo balina olina kusooka kusasula bakanyama 2,000 olwo ne bakwebagajja. Piki ezitatisse bintu nazo zimala kusasula 2000 okugisitula obutayingiramu mazzi.

Ab'ebidduka abajja nga tebamanyi kyaguddewo olutuuka ku mugga gwa Mayanja ogwabomose we bakoma ne baddayo gye bava. Embeera eno ekosezza nnyo abatambuze kuba ekkubo lino libadde likutula mangu ku bantu abava ku lwe Masaka okugenda ku lwe Mityana n'okudda.

Ate ye Tonny Ssenkungu, sipiika w'eggombolola ya Mumyuka-Wakiso   yagambye nti oluvannyuma lw'emmotoka okugwa baakwatagana ng'abakulembeze mu kitundu ne bawandiikira disitulikiti y'e Wakiso kuba be bavunaanyizibwa ku kkubo lino. Ekigoma kye kyasooka okubomoka.

Betty Naluyima amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso yagambye nti eky'okuggala oluguudo be baakisazeewo nga disitulikiti okusobola okutangira obuzibu obulala okugwawo.

Ekkubo lino yagambye nti mu kiseera kino minisitul y'ebyenguudo y'erivunanyizibwako oluvannyuma lw'okulitwala ng'agamu agagenda okweyambisibwa okukendeeza akalippagano k'ebidduka ku luguudo lwe Masaka ne Mityana.

Nga disitulikiti baawandiikidde minisitule ne babategeeza akabenje akaaguddewo awamu ne ky'okuggala oluguudo. Mu kiseera kino tebannaba kufuna kuddibwamu ate nga baasangiddwa nga tebalina busobozi butindira waabomose mu kiseera kino.

Omwogezi w'ekitongole kya UNRA ekivunanyizibwa ku nguudo za gavumenti, Mark Ssali yagambye nti bakola ekisoboka okulaba nga bamalawo obuzibu obuliwo ekkubo liddemu okuyitamu abantu kuba bangi abanyigirizibwa.

TAATA W'EYAFUDDE SI MUMATIVU

Abud Majidu  Shyakul ow'e Kittula Namayumba azaala Jamirah Nakamya Nalweyiso eyafiiridde mu kabenje akaavudde ku kkubo eryabomose yagambye nti awulira ennaku okuba nga muwalawe yafudde mu nfa bwetyo.

Yagambye nti bweyayogera n'abaali ku mmotoka eyagwa baamutegeeza nti  Nakamya yasooka kubeera ng'avaamu, kyokka endagala ezaali ku mmotoka ne zimugwira n'akka mu mazzi agaali ganjadde n'abulirayo.

Yasabye Gavumenti okumuliyirira olw'omwanawe kuba okufa kwe kwavudde ku gavumenti butadaabiriza luguudo.

Omulambo baaguzuula oluvannyuma lw'ennaku ssatu ng'omuvubi eyagulaba baamusasula 1,200,000. Omugenzi  abadde abeera Kasenge nga si mufumbo era teyalese mwana yenna. Yaziikiddwa ku kyalo Matte-Nabiteete ku luguudo lwe Hoima ku Ssande nga October 13, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...

Minisita Sarah Opendi ng'ayogera.

Atalina lukusa lwa kusima m...

Gavumenti ng'eyita mu Minisitule y'ebyobugagga eby'omu ttaka ereese ebbago ly'etteeka erinaalung'amya bonna abasima...

Aba Yellow Power, wakati ye Mandera Jjumba addiriddwa Gerald Kasagga (ku ddyo)  nga bali mu lukungaana lwa bannamawulire.

Aba Yellow Power beemulugun...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power  mu kibiina kya NRM,  bavuddeyo ne bakukkulumira bakama baabwe obutafaayo...

Ddamba ng'ayogerera mu lukiiko lwa Bannalubaga.

Ssente z'okuzimba omwala gw...

Ssente z'okuzimba omwala gwa Nalukolongo Channel zatwaliddwa bbanka y'ensi yonna, olw'okumala ebbanga eddene nga...

Prossy Owamani akkirizza nga bw'azadde omwana n'amusuula mu kaabuyonjo.

Azadde omwana n'amusuula mu...

Abatuuze mu bitundu by'e  Kawaala mu Central zooni baguddemu ekyekango oluvannyuma lw'omuwala okuzaala omwana ...