TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugema ne UCU basiitaana kwesogga fayinoilo za University League

Bugema ne UCU basiitaana kwesogga fayinoilo za University League

Added 16th October 2019

EBULA essaawa mbale olutalo lw'okwesogga fayinolo y'empaka za University league lutandike wakati wa ttiimu y'Ettendekero ly'Abadiventi erya Bugema n'ery'Abakristaayo (erya UCU) lutandike.

 
Ensiike eno yaakuyindira ku kisaawe kya Bugema e Luweero nga banyinimu aba Bugema bakyaaziza UCU mu mupiira ogusalawo ttiimu eneetuuka ku fayinolo z'empaka za University league ez'omwaka guno e Namboole.
 
Abawagizi n'abazannyi ba ttiimu zombi baasuze bulindaala nga buli ludda luwera okufiirawo okumalira ku  luzannya olw'akamalirizo sizoni eno.
 
"Tulinze ssaawa yokka okukaabya UCU amaziga mu maaso g'abawagizi baayo kubanga twagala kusitukira mu kikopo kya sizoni eno nga tutuuse ku fayinolo gye tuluubirira", bwatyo kapiteeni wa Bugema Raymond Birahure bwe yategeezeza nga bakamaliriza okutendekebwa ku Lwokubiri  akawungeezi e Luweero awasangibwa ettendekero lino.
 
Wabula ne munne bwe bafaanaganya emirimu ku UCU  Derrick Were yamwanukudde  nti nabo balina ekigendererwa kye kimu (kya kuwangula Bugema batangaaze emikisa gy'okusitukira mu kikopo ky'omulundi guno).
 
Ensiike eno yakunyumira Luweero (mu kisaawe kya Bugema) ku ssaawa Mwenda ez'emisana(9:00) era nga ya luzannya lwa kuddingana oluvannyuma lwa UCU okuwangula Bugema ggoolo 2-1 mu lwasooka e Mukono (UCU gy'ekyaliza).
 
Era nga Bugema eweze okwesasuza UCU olw'okugiswaliza  mu maaso g'abawagizi baayo mu gwasooseewo wiiki ewedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...