TOP

Anoonya obukadde 20 ez'okumulongoosa omutima

Added 16th October 2019

Nakamya yagambye nti kitaawe w’omwana ono yafiira mu kabenje omwaka oguwedde era ng’okuva bwe yafa embeera yayongera okumukaluubirira.

 Eseza anoonya ssente z'okumulongoosa omutima nga maama we amusitudde

Eseza anoonya ssente z'okumulongoosa omutima nga maama we amusitudde

OMWANA eyazaalibwa n'ekituli ku mutima yeetaaga obukadde obusoba mu 20 okulongoosebwa mu Buyindi.

Eseza Kabatesi nga wa myaka gumu n'ekitundu nga muwala wa Margaret Nakamya omutuuze w'e Busunju Mityana ayita mu bulamu obuzibu  olw'ekituli ky'alina ku mutima nga kye kimuleetedde okugaana okukula obulungi.

 Maama w'omwana ono ayitibwa Nakamya yagambye nti baamuzuula ku myezi mukaaga ng'alina ekituli ku mutima kyokka ne banoonya ssente ez'okumulongoosa ne zibula

Nakamya yagambye nti kitaawe w'omwana ono yafiira mu kabenje omwaka oguwedde era ng'okuva bwe yafa embeera yayongera okumukaluubirira.

Mu kiseera kino Eseza tasobola kussa bulungi, ate nga n'okulya wakukaka olw'obulumi bw'alina.

Asaba abalina obuyambi okubuweereza ku ssimu nnamba  0774638662, ng'eri mu mannya ga  Margaret Nakamya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...