TOP

Eddy Kenzo ali mu mbeera mbi - Maneja we

By

Added 16th October 2019

MANEJA wa Eddy Kenzo amanyiddwa nga Martin Beta Muhumuza akubye olukung'aana ku ofiisi zaabwe eza Big Talent House ezisangibwa ku Salama Road n'ategeeza nga bwe watabaawo kikolebwa ku bigenda mu maaso omuyimbi Eddy Kenzo ayinza okubava ku maaso.

Bw'abadde ayogerako ne bannamawulire ategeezezza nti embeera Kenzo kati gy'alimu emweraliikiriza kubanga asobola okwogera naye namusaba akakane ebintu abiveeko wabula mu ddaakika ntono nnyo naddamu okumukubira nga amugamba tali bulungi yadde ebintu eby'amwogerwako bimunyiga okubeera ng'ayungula amaziga buli kaseera.

Mu kaseera kano nga namasimu gebawanyisiganya geyongera lwa mbeera eriwo ate nga ayogera naye nga akaaba wamu n'okubeera nga ali mu nnaku.

Asabye abantu ensonga zino okukomya okuzibuusa amaaso nga balowooza nti ekintu kitono n'okumusalira omusango nti akaabira Rema akatono nti Kenzo akabira Rema kuba singa kibadde ekyo teyandimulesewo myaka 2 mu nyumba wabula kino kisuuka okuyimba nekituuka ku bulamu bw'omuntu era nga wayogerera bino obulamu bw'omuyimbi w'eggwanga buli mu matigga.

Muhumuza ategeezezza nti ekibiina kya Big Talent ekitwala Eddy Kenzo tekitera kuvaayo kwogera naye eno ensonga essusse, bw'atyo n'asaba abakulembera Obusiraamu wamu n'abantu bonna abalala bamuyambeko bagonjoole ensonga eno kubanga ye alabika alemeddwa.

Ategeezezza nti ekisinga okuluma Kenzo kwe kuba nti abantu bakimussaako nti byonna by'akola abikola kufuna ttutumu n'agamba nti Kenzo mwennyamivu kuba Bannayuganda abamu balemeddwa okusiima ebyo by'akoledde eggwanga.

Muhumuza agamba nti Kenzo ekya Muzaata okumugamba okuwasa nnyina kyamuluma nnyo era bw'atavaayo kwetonda ajja kukola kyonna ekisoboka oba afa afe naye nga Muzaata amenyewo byonna bye yayogera ku nnyina.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo