TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte abadde ayonsa abaana ba banne ng'ate mulwadde

Bakutte abadde ayonsa abaana ba banne ng'ate mulwadde

Added 16th October 2019

Poliisi y'e Nabweru ekutte omukazi agambibwa okuyonsa abaana babaliraanwa be kyokka ng'alina akawuka akaleeta sirimu.

 Muhindo agambibwa okuyinsa abaana batali babe.

Muhindo agambibwa okuyinsa abaana batali babe.

Bya Regina Nalunga

Poliisi y'e Nabweru ekutte omukazi agambibwa okuyonsa abaana babaliraanwa be kyokka ng'alina akawuka akaleeta sirimu.

Sharon Muhindo omutuuze w'e Nabweru South cell 1 yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'abatuuze banne okumuloopa nga bwaludde ng'ayonsa abaana baabwe.

Kiddiridde okumusanga lubona ng'aliko omwana wa munne gwayonsa.

 Wano abatuuze we baggye okwekengera ne bateegeezaako abobuyinza. Bagenze okukebera Muhindo nga mulwadde.

 bazadde nabaana baabwe abagambibwa nti uhindo abadde abayonsa Abazadde n'abaana baabwe abagambibwa nti Muhindo abadde abayonsa.

 

Ekisinze okuggya abatuuze mu mbeera, kwe kutwala omu ku baana babadde ayonsa abasawo ne bamussa Ku mpeke za ARV's eriweebwa abalina sirimu.

Abatuuze boogedde ku Muhindo ng'omuntu ow'ekisa ng'ayagala nnyo abaana abato kye bavudde nga bamuleka okubeera n'abaana baabwe.

 Ssentebe w'ekitundu Nankya (wakati) ng'ayogherako eri abatuuze ku mbeera eno.

Shakirah Tushemeirirwe maama w'omwana ateekeddwa ku ddagala alaajanidde aboobuyinza okuyingira mu nsonga eno kubanga talina busobozi bugenda kulabirira mwana eyateekeddwa ku ddagala .

Dorothy Nankya, ssentebe w'ekitundu avumiridde ekikolwa kino  era nasalawo  Muhindo agobebwe  ku kyalo.

 umushemereirwe nomwana we eyaweereddwa eddagala eriziyiza akawuka ka iriimu Tumushemereirwe n'omwana we eyaweereddwa eddagala eriziyiza akawuka ka Siriimu.

 

Luke Owesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi akakasizza okukwatibwa kwa Muhindo n'agamba nti wakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe ssinga kizuulibwa nti abadde ayonsa abaana abatali babe.

Agudwaako gwa bulagajjavu ekiyinza okuviirako abaana okufuna obuwuka obuleeta endwadde ku fayiro nnamba REF :31/15/10/2019.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Ssekikubo.

'Ab'ebyokwerinda mukomye ok...

Omubaka akiikirira essaza ly’e Lwemiyaga mu Disitulikiti y'e Ssembabule, Theodore Ssekikubo asabye ebitongole...

Abaserikale nga balawuna embeera ng'eno abantu bwe bazina.

Ebyokwerinda binywezeddwa m...

Ebyokwerinda binywezedwa mu Katale e Wandegeya ng'abasuubuzi beetegekera okufuna ssentebe wa katale kaabwe omupya...

George Wasswa

Enkola eziyiza okusiiga sir...

MU Kaweefube w'okulwanyisa akawuka ka siirimu, bingi ebikoleddwa okulaba nga kalinnyibwa ku nfeete. Ebitongole...

Abantu nga basobeddwa.

Abantu basattira lwa ofiisi...

ABANTU abaababadde bagenze okufuna n'okuzza pamiti zaabwe obuggya baasobeddwa bwe baasanze nga ofiisi nzigale nga...

Ssigiri bwe zirabika nga ziwedde.

Akoze essigiri ezikolera ku...

Claus Archilles Lumu 23 omutuuze w'e Ntinda akoze ssigiri ekolera ku maanyi g'enjuba ekiyamba okukekkereza ku manda....