TOP

Dj Frank Jay ebitaala byamuta

Added 16th October 2019

Dj Frank Jay takyasabirwa. ali Butuluki akuba baayo miziki ayoola ssente.

 Dj Frank Jay n'ebyana

Dj Frank Jay n'ebyana

"Nalinya kiraasi, emiziki kati ngikuba na banene" Bwatyo Dj Frank Jay bwatandise ng'ayogera ku bulamu bwe, gy'ali ne ky'aliko.

Oluvannyuma lw'ebbanga nga asiriikiridde mu ggwanga talimu n'abawagizi be beebuuza gye yabuulira ne ky'aliko,  

Francis Yiga amanyiddwa nga Dj Frank Jay eyaali DJ w'omuyimbi Ragga Dee omutongole agamba ali bulungi era buli kimu kitambula bulungi mu kiseera kino ali mu ggwanga lya Butuluki (Turkey) gye yagenda okwongera okusoma n'okukuguka mu by'emiziki.  

j yiku kkono ne j rank ayDj Ayi(ku kkono) ne Dj Frank Jay.

Asoma ‘sound mastering' ku tendekero lya ‘Modern Music Academy mu kibuga Istanbul mu kiseera kye kimu nga bwakola okufuna ssente ezimubeezaawo.

Omulimu akola gwa kutabula miziki mu kimu ku bifo ebisanyukirwamu ebisinga okuba eby'omulembe mu Istanbul ekimanyiddwa nga ‘Afro Istanbul night club'.

Dj Frank Jay ajjukirwa ennyo olw'oluyimba lwe ‘Arsenal musituke' lwe yakola ne Dj Dan agamba teyeejusa kugenda bulaaya kubanga ng'ogyeko okusoma, afunye omukisa okusisinkana n'okukolako n'abayimbi abanene ssaako ba DJ ab'amanya okuli;

Rude boy (Paul Okoye) eyaali omu ku ba P-Square, DJ Ayi (Dj wa Timaya), Omunigeria Phyno n'abalala.

 ud boy ku kkono ne j rank ay Rud boy (ku kkono) ne Dj Frank Jay.

agamba kati afunye obukugu n'obumanyirivu obumala era tasuubira nti waliwo Munnayuganda ayinza okumuwunyamu mu kutambula emiziki.

Yiga olimu eyeeyita ‘The triple threat' olw'ebitone bye ebisatu okuli; okusunsula n'okutabula emiziki, okukola obwa pulodyusa n'okuyimba,

Bwabuuziddwa ddi lwasuubira okudda mu ggwanga agambye nti ali mu nteekateeka za kudda omwaka ogujja atandikewo situduyo ey'omulembe mu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...