TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu ku mirimu

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu ku mirimu

Added 16th October 2019

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu wakati mu kusoomoozebwa kwe bakoleramu.

 abakozi ba KCCA ne Rev Can. Kasirye

abakozi ba KCCA ne Rev Can. Kasirye

BYA PROSSY NABABINGE.

Abakozi b'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu wakati mu kusoomoozebwa kwe bakoleramu. 

Bino bibagambiddwa Rev. Canon Eric Kasirye okuva mu busabaddinkoni bw'e Luteete mu Bulabirizi bw'e Luweero mu kusinza okwategekeddwa awabeera enkiiko za meeya ku ofiisi za Kampala Central.

Ono abasibiridde entanda mu kitabo kya Bafiripi 4:11 era n'abeebaza okubeera abagumiikiriza nga kwotadde n'okubakulisa okuweza emyaka 3 nga bakungaana mu kusinza okubeerawo buli Lwakusatu olusooka mu mwezi. 

Oluvannyuma baasaze keeki y'obuwanguzi era ng'okusaba kuno kwetabiddwamu abakozi mu kitongole ku madaala agenjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono