
Abagambibwa okubbisa emmundu nga bali mu kkooti e Wakiso. Ku kkono ye Julius Turyahikayo, Richard Mwebaza, Ibrahim Bukenya, Sam Muliisa (mu bululu) ne Rashid Kapi mu bikuubo emabega.
Bya PETER SSAAVA
ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula e Wakiso ne babasomera omusango guno.
Abavunaanibwa kuliko; Ibrahim Bukenya, Richard Mwebaza, Sam Muliisa, Rashid Kapi ne Julius Turyahikayo.

Kigambibwa nti baalumba kkampuni y'Abachina ekola enzigi eya Fujian Fabricating Company e Nkoowe mu Wakiso.
Ekikolwa kino baakikola nga June 16, 2018 era nga babba obukadde 250, amasimu 4, laptop 2 n'ebintu ebirara.
Omulamuzi Damalie Lwanga yabazizza mu kkomera e Kigo okutuusa nga November 6, 2019 okuddamu okuwulira obujulizi obulala.
