TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako

Added 19th October 2019

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako

AKULIRA ebibiina by'obwegassi mu kawempe avumiridde abakungu mu gavumenti abakozesa obubi ofiisi zaabwe ne babalagira okuwandiisa ebiibina nga tebamaze kubinoonyerezaako .

Sarah Namugoya  Mazima akulira obutale  n'ebibiina by'obwegasi mu kawempe yasinzidde ku mukolo gw'okutongoza  ekibiina kya Kaleerwe Market  Women Vendors  SACCO ekyegatibwamu abakyala b'omu butale okuli aka Freedom, Dembe ne Ssemiguwa  n'ekigendererwa ky'okulwanyisa obwavu .

 Namugoya  yagambye nga bwe waliwo abakulu naddala ab'enju y'obwa pulezidenti (State House ) abakozesa ebiragiro nga babagamba okugulawo  ebibiina by'obwegasi nga tebamaze ku binoonyerezaako ng'abamu ababikulira baba tebasoose kuyita mu mitendera mituufu ng'oluusi bafundikira banyaze abantu .

Yagasseeko n'ababula abantu  obutamala gayingira mu buli kibiina kya bwegasi naddala mu biseera by'okunoonya akalulu ng'abamu babeera n'ebigendererwa byabwe yagambye nti  mu kusooka waliwo obufere mu batandika ebibiina by'obwegassi  naye kati amateeka gakyukamu ng'okuggulawo ekibiina olina okuba nga toli bubi mu by'enfuna kuba baakizuula abamu baba baavu olumala okukung'aanya ssente nga badduka .

" Order from Above okusinga z'ezivaako obuzibu kuba bakusindikira omuntu  owandiise ekibiina kye ng'amazima tamaze  kunoonyerezzako  ng'ate abamu baba tebalina ssente ne bafundikira nga babbye abantu" Namugoya bwe yategeezezza

Omukolo guno gwetabiddwako meeya we Kawempe Dr Emmanule Sserunjogi eyavumiridde abagulawo ebibiiba by'obwegasi n'ekigendererwa ky'okuvuma nabaabwe  , yavumiridde n'abasajja abasuliridde amaka gaabwe ekiviriddeko abakazi okweyombekera .

Sarah Namatovu omuwanika w'ekibiina  kino yagambye bali bammemba 287 ng'abasinga baasulibwawo abasajja ekyabaawalirizza okudda mu butale okunoonya ssente okulabirira abaana baabwe ng'era ekibiina kibayambye okubawoola ssente ne bongera mu bizinensi zaabwe.

Omukolo gw'etabiddwako abakulembeze b'obutale okwabadde Said Waisswa akulira abasuubuzi mu katale Freedom, Sulaiman Ssekanyo akulira abasuubuzi mu lufula y'oku kaleerwe , Madiina Nsereko commissioner w'eby'e ttaka mu ggwanga ,omusumba Godfrey Luwaga ng'ate ye ssentebe w'ekibiina kya NRM mu kawempe n'abalala  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...