TOP

Taata asse omwana n'amusuula mu kaabuyonjo

Added 19th October 2019

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu kaabuyonjo ya muliraanwa.

 Busuulwa eyasse omwana we Ssimbwa ku ddyo

Busuulwa eyasse omwana we Ssimbwa ku ddyo

Abatuuze ku kyalo Ssumbwe mu Wakiso baatabuse nga baagala okubagajambula okukkakkana nga poliisi ekubye amasasi okubagumbulula.

Poliisi oluggyeeyo omulambo mu kaabuyonjo abatuuze ne batandika okukaaba nga bwe bakolimira abazadde obwedda be boogerako ng'abatemu nga bwe bagamba nti omusajja oyo naye agwana kalabba ate abalala nga baagala agobwe ku kyalo.

Patrick Simbwa ow'emyaka ebiri n'ekitundu ye yattiddwa kitaawe, Patrick Busuulwa 23 era kigambibwa nti okumutta kyavudde ku mukyala we, Allen Bukirwa 18, okumuteeka ku nninga ng'amugobya omwana ono buli kiseera era ng'abadde amutiisatiisa n'okunoba singa tamuggyaawo. Omwana ono yamuzaala mu mukyala mulala.

Bombi bagguddwaako omusango gw'okutta ku poliisi y'e Wakiso wabula bano baasoose kwewozaako. Omukyala yategeezezza nga bwatalina mukono mu kutta mwana ono ate ye Busuulwa yakkirizza omusango gw'okutta nti teyagenderedde wabula n'asaba bamusonyiwe.

Bwe baabadde batwalibwa, abatuuze baasoose kwekalakaasa ne bakuba poliisi amayinja.

Charles Kabanda ssentebe w'e Ssumbwe yategeezezza nti ku Mmande, Busuulwa yamutuukirira n'abategeeza ng'omwana w'abuze nga yabadde amulese ku lubalaza kwe yabadde amusimbye okweyamba ekiro kyokka yagenze okufuluma teyamusanzeewo.

Ssentebe yayongeddeko nti okusinziira ku ngeri Busuulwa gye yannonnyoddemu, kyamuleetedde okumubuusabuusa n'asalawo okutandika okubuuliriza ku kyalo asobole okumanya ekituufu.

Baliraanwa ba Busuulwa baamutegeezezza nga abafumbo abo bwe bamaze ebbanga nga batulugunya omwana nga n'olumu tebamuwa mmere. Kino kyayongera okumukakasa nti Busuulwa yandiba nga yasse omwana we.

Yategeezezza nti beekuhhanyizza n'abaakakiiko abalala n'abatuuze ne batandika okunoonya omwana wabula nga Busuulwa balaba mweraliikirivu ng'alinga eyazzizza omusango ekyabaleetedde okwongera okumwekengera.

Ssentebe Kabanda yategeezezza nti, oluvannyuma yatadde ku Busuulwa enkessi era bano ne balaba Busuulwa ekiro ng'asindiikiriza mukyala we n'abaana basule mu baliraanwa.

Obudde bwe bwaziba, baalaba Busuulwa ng'agenda mu mwala n'aggyawo omulambo gw'omwana gwe yali asibidde mu kaveera n'agutwala wabula baakoma okumutambulizaako amaaso ng'akyama mu maka ga muliraanwa we kyokka tebaamanya gye yasuula mulambo.

Yagambye nti enkeera ku Lwokusatu nga October 17, 2019 yakeera mu maka nga Busuulwa ng'ali n'abatuuze era ng'amaze n'okutemya ku poliisi.

Abatuuze baasoose ne bakuba Allen Bukirwa mukyala wa Busuulwa nga baagala ayogere ekituufu kyokka ssentebe n'amubaggyako n'asooka amukema era we yabategeerezza nga Busuulwa yennyini bwe yettidde omwana we naye nga tamanyi mulambo gye yagututte.

Yagambye nti embeera yeemu era gye yayisaamu Busuulwa n'ayogera amazima nga bwe yamutta mu butali bugenderevu n'asooka amusuula mu mwala kyokka bwe yalabye ng'abatuuze bayinza okuzuula omulambo n'aguggyawo n'agusuula mu kaabuyonjo ya muliraanwa we Norah Nsereko.

Patrick Busuulwa olwamaze okwogera bino atwala Poliisi y'e Bulaga n'amuteeka ku kabangali ne mukyala we n'abatwala ku poliisi y'e Bulaga gye baggyiddwa ne batwalibwa ku poliisi e Wakiso okubataasa ku batuuze baleme okubanganjambula.

Omulambo gw'omwana gwatwaliddwa poliisi eyakulembeddwa DPC w'e Wakiso, Patrick Isaamat mu ggwanika e Mulago.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza okufa kw'omwana ono n'okukwatibwa kw'abafumbo bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...