TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja asse muganda we gwe yasuze naye mu nnyumba

Omusajja asse muganda we gwe yasuze naye mu nnyumba

Added 20th October 2019

Omusaj ja asse muganda we gwe yasuze naye mu nnyumba

 Mugisha

Mugisha

OMUSAJJA awuniikirizza abatuuze bwe yeefuulidde muganda we gw'abadde abeera naye n'amutema okutuusa lw'amusse. Ettemu lino, lyabadde Busega mu Kibumbiro Zooni, Fred Mugisha 54 , bwe yattiddwa mu ntiisa muganda we gwe yabadde asuze naye mu nnyumba.

Ekituufu ekyavuddeko ettemu lino tekimanyiddwa kyokka nga waliwo abatuuze abagamba nti Mugisha yabadde alina 500,000/- nga ziyinza okuba nga ze zaavuddeko omutawaana.

Abalala bagamba nti Mugisha yalemesezza muganda we okunywa obutwa n'asalawo okumutta. Engeri Mugisha gye yattiddwaamu yabadde yantiisa kubanga baamutemye omubiri gwonna nga buli eyalabye ku mulambo yeewuunyizza obusungu omutemu gye yabuggye.

Abatuuze bagamba nti yasoose kumutema ku mutwe era bwe yawanjaze abatuuze ne bakunhhaana nga baagala okumutaasa. Omutemu abantu gwe baabadde bamanyi nga muganda we kyokka nga tebamanyi mannya ge baagambye nti olwalabye abantu nga bakuhhaanye n'afuluma n'ejjambiya nga yonna ajjudde omusaayi ng'akirako eyabadde ava mu bbaagiro n'agibasongamu ejjambiya ne babuna emiwabo.

Yazzeeyo mu nnyumba n'addamu okumutema ng'abantu bawulira emiranga kyokka nga batya okuyingira mu nnyumba okumutaasa. Ng'eringa ffirimu yennyini, omutemu yazzeemu okufuluma n'ejjambiya nga yekalaakasa era abatuuze olwamulabye ne badduka. Yazzeeyo mu nnyumba omulundi ogw'okubiri n'ayongera okumutema. Omulambo gwa Mugisha gwabaddeko ebiwundu ebisukka mu 20 ku magulu, omutwe, emikono, omugongo n'ensingo.

Ssasi Kato nnannyini nnyumba omugenzi kw'abadde asula yagambye nti, baliraanwa ba Mugisha olwamutegeezezza nti waliwo omutemu asse Mugisha, yakubidde poliisi essimu eyayanguye n'esanga omutemu ng'akyatemaatema muganda we newankubadde yabadde amaze okufa.

Aba poliisi abaasooseewo baagezezzaako okulemesa omusajja ono okugenda mu maaso n'okutema Mugisha nga tabawuliriza. Baasazeewo okuwalampa ennyumba ne baggyako ebbaati basobole okugwa munda nga tabalaba.

Kyokka omutemu olwategedde nti bamuzingizza n'aggulawo oluggi n'afuluma nga bw'awuuba ejjambiya eyabadde ejjudde omusaayi era abatuuze abaabaddewo ne beesega.

Abaserikale baamugobye nga bwe bakuba amasasi mu bbanga okutuusa bwe yayingidde edduuka lya Annette Namutebi eryabadde eriggule. Poliisi omutemu yamukwatidde mu dduuka lya Namutebi oluvannyuma lw'okumukuba amasasi agaamukwasizza amagulu.

Oliver Kulinyira atwala poliisi y'e Busega, Kibumbiro yagambye nti mu kavuvunhhano kano ejjambiya yamukwasizza ku mukono. Ate Ediriisa Kitooke akolera ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO, yakubiddwa ejjinja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....