TOP

'Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte

Added 20th October 2019

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte

 Baddereeva nga bagezaako okuziba ebinnya omulegama amazzi mu Ppaaka.

Baddereeva nga bagezaako okuziba ebinnya omulegama amazzi mu Ppaaka.

BAddereeva mu Ppaaka Enkadde balaajanidde bekikwatako baveeyo babayambe ku mbeera ya ppaaka eno efuuse ekiraalo ky'ente.

Enkuba efudemba ennaku zino efudde embeera mu ppaaka eno okuba embi ebitagambika nga n'emmotoka naddala ku ludda lwa siteegi y'e Ntebe zituuse okutendewalirwa olw'ebinnya n'ebitoomi ng'abasaabaze tebalina we basobola kuyita.

Kino kigootaanyizza enkola y'emirimu mu baddereeva nga bagamba nti batuuse okuwalirizibwa okutandika okutikkira wabweru wa ppaaka olw'abantu okutya okuyingira mu ppaaka olw'ebisooto ate nga n'emmotoka ezimaze okutikka ziseerera.

Richard Ssemuju Tesco owa difensi ku siteegi y'e Ntebe yategeezezza nti embeera ya Ppaaka Enkadde yonna naddala ku siteegi yaabwe eyungula ezziga wadde nga bekikwatako bakyagaanye okuvaayo okubaako kye bakolawo ekibawalirizza nga bo abakolera ku siteegi eno okwekwatiramu omulimu ne basomba ebibbulooka okubiyiwa mu ppaaka basobole okufuna we bakolera emirimu nga bwe balinda gavumenti ebayambe.

Ng'oggyeeko baddereeva n'abantu abalala abakolera emmirimu mu ppaaka ng'abatunda ebyokulya nabo balaajana olw'okuba nti tebakola lwa nsonga abantu ababagulako tebasobola kuyingira mu ppaaka olw'embeera gy'erimu.

Basabye bekikwatako baveeyo bakole ekisoboka okulaba nga babayiira kkolaasi mu ppaaka muno kuba nabo bawa omusolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...