TOP

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Added 20th October 2019

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

 Bp. Matovu (mu gganduula) n’abayizi abassiddwako emikono n’okusabirwa. Emabega mu ttaayi ye nnannyini ssomero, Ronald Mpagi.

Bp. Matovu (mu gganduula) n’abayizi abassiddwako emikono n’okusabirwa. Emabega mu ttaayi ye nnannyini ssomero, Ronald Mpagi.

OMULABIRIZI wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu asabye abayizi okuba abagumiikiriza mu buli kye bakola kibayambe okutuuka ku buwanguzi.

Bp. Matovu yagambye nti abaana bangi tebatadde bugumiikiriza mu bye bakola ekibaleetedde okufuna okusoomoozebwa mu bye bakola ne balemwa okutuukiriza kye babasuubiramu.

Okwogera bino, Bp. Matovu yabadde ku ssomero lya Good Times Infant School Kawaala ng'ateekako abaana emikono n'okusabira aba P7 Mukama abasobozese okukola obulungi ebibuuzo byabwe ebisembedde. Yasabye abayizi obuteerabira babayambye kutuuka ku mutendera gwe baliko. "Okutuuka wano we mutuuse wabaddewo okusoomoozebwa kungi naye temuleka kwebaza abo ababayambyeko.

Mbasabira buwanguzi mu bibuuzo bye mugenda okukola mubiyitire waggulu," Bp. Matovu bwe yategeezezza. Yakutidde abayizi okuba n'obumu mu buli kye bakola ate nga bafaayo okwebuuza n'okuzuula ebipya kibayambe okuba abamanyi.

Omutandisi w'essomero lino, Ronald Mpagi yategeezezza nti omulimu gwabwe bagukoze nga kati balinze bayizi kubalaga kye basomye mu myaka 7 era babasuubiramu ebirungi bingi.

Yagambye nti ku lunaku lwe basabira aba P7 era basalawo okuteekako abaana emikono kiyambe abaana okusoma ate nga batambulira mu makubo amatuufu aga Mukama ate nga batuukiriza buli mutendera mu ddiini.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...