TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Added 20th October 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

 Akaddo ka Lavender nga bwe kafaanana.

Akaddo ka Lavender nga bwe kafaanana.

Tuzze twogera ku birime eby'enjawulo by'osobola okusimba mu nkuba eno ekyafudemba ennaku zino. Leero njagadde nkulage ku kaddo ka Lavender, ggwe atamumanyi, ke kaddo abaana ke baateekakanga mu bitabo nga kalina akawoowo era Abakristaayo nabo baakassanga mu bitabo bye basoma ne kabakkakkanya olwo ne basobola okujjukira bye basomye.

Lavender afaananako ne Rosemary kubanga bigwa mu kika kimu ekya ‘Lamiacae' noolwekyo guno omuddo osobola okugukolamu ssente n'ogaggawala. Ekirala ekirungi ekiri ku Lavender, kwe kuba nga teyeetaaga ndabirira ya maanyi ate talwala nga bw'olaba ebirime ennaku zino ebirwala ne bikulira ku ddagala.

Ate ng'alina akatale mu nsi yonna. Abakola sabbuuni n'ebizigo bamutabulamu ne bafuna akawoowo, wabula bannamakolero abamu tebakozesa wa butonde nga ffe. Yo Rwanda twabasomesa okumulima naye kati batandise okumutunda ebweru.

Ennima Lavender taboola ttaka, bwomusimba teyeetaaga kukozesa bigimusa ate osobola okumusimbira mu birime ebirala gamba nga kalittunsi, ebitooke n'ebirala.

Akulira mu myezi 6, nga yiika osobola okukamulamu liita 20 nga buli emu tugigula emitwalo 30, bw'obeera ne yiika 10 olwo obeera ofuna obukadde 60.

Wabula amakoola amabisi buli kkiro tugigula 300/- era ffe katale. Alina yiika emu, osobola okujja ne tukuguza ekyuma ng'osasudde ebitundu 75 ku 100 ne tukuyigiriza okukamula ku bwereere.

 kaloosa ka avender akakolebwa rof ioresearch Akaloosa ka Lavender akakolebwa Prof Bioresearch

Ate eyalima yiika 10 oyo afuna ekyuma ekikamula ku bwereere. Emigaso emirala 1 Ayamba ku nkovu, ezizimbye okuli omuliro, obubenje n'endala olw'ekirungo kya ‘Linalool' ekimulimu ekiyamba omubiri okweddaabiriza ate aleeta ekirungo kya ‘Collagen' okweyongera mu mubiri.

2 Ssinga omwesiiga ku mutwe n'emabega w'amatu, ayamba okutereeza entambuza y'omusaayi n'otolumwa mutwe.

3 Atafuna tulo, mutonnyeze ku katto ke weezizika ajja kukuyamba mu kukola amasannyalaze ga ‘Delta waves' agaleeta otulo n'osobola okwebaka. 4 Ayamba okutereeza ekitundu ky'obwongo kye bayita ‘Limbic' ekivaako okuleeta essanyu, noolwekyo omuntu agenda okubuuzibwa mu kigezo osobola okwekuba akawoowo ka Lavender kuba akasikako akkakkana.

5 Abakozeza ebiragalagala abayamba okukkakkana n'obuteeraliikirira, naawe ali mu birowoozo mukozese. Kye kimu ne ku bakyala abali embuto kabayamba obuteeraliikirira ne basumulukuka bulungi olw'okweggyako ebirowoozo.

6 Abayizi kabayamba okukkakkana ne bajjukira ebyo bye baba basomye ne basobola okuyita ebigezo. 7 Alina entunnunsi ayamba ssinga omunywa oba okwesiiga mu kifuba, ate tulina n'amajaani agayamba ku balwadde ba puleesa.

8 Alumiddwa ekiwuka, musiigewo akkakkanye obulumi n'okuziyiza okuzimba.

9 Aloota ng'agugumuka, naawe mukozese ajja kukuyamba. Ebisinga awo tujja kubisanga mu musomo gwaffe ogwa Sundowner ogukomyewo tuddemu okuyiga bwe bagattako omutindo.

Tugenda kubeera ku Sharing e Nsambya. Mu musomo gwa ‘The Great Sundowner' nga October 31, 2019.

Tujja kuyiga ebintu eby'enjawulo omuli, Enkuuma y'amatooke amawaate, okwekolera ebirungo by'enkoko n'okekkereza, enteekateeka y'ekitiko (Cumbucha), Amamera g'obulo abakola emmere yebisolo, okulunda ebiwuka ng'emmere y'ebyennyanja n'enkoko, ennima ya Rosemary n'okukamulamu butto n'ebirala.

Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...