TOP

Engeri omukazi gye yasse omugagga Jabar

Added 21st October 2019

Jabar 36, omugagga w’e Ntinda ng’abadde alina amaka agatemya ng’omuntu e Najjeera, yattiddwa mulamu we, Zaina Karama eyamu­kubye essasi mu kifuba nga bali mu ddwaaliro era Al Sayed Ali Abdul Jabar n’afiirawo.

 Amaka g’omugagga Ali eyattiddwa

Amaka g’omugagga Ali eyattiddwa

Bya LAWERENCE KITATTA

OMUGAGGA abadde alwanye entalo ez'enjawulo nga n'ezimu aziwangudde, yattiddwa mu ngeri eyalese abantu nga beewuunya.

Jabar 36, omugagga w'e Ntinda ng'abadde alina amaka agatemya ng'omuntu e Najjeera, yattiddwa mulamu we, Zaina Karama eyamu­kubye essasi mu kifuba nga bali mu ddwaaliro era Al Sayed Ali Abdul Jabar n'afiirawo.

Aba famire bagamba nti mulamu we yamukubye essasi mu butanwa ng'akozesa piisito ya Jabar yennyini.

 mugenzi abar Omugenzi Jabar

 

Jabar abadde mu ddiiru nnyingi ne bizinensi eziwerako era abadde ayogera lunye nti waliwo abantu abamulondoola abaagala okumutta, kyokka teyakirowoozaako nti ayinza okufa mu nfa gye yafuddemu.

We yafiiridde abadde yaakamali­riza okuggusa ddiiru y'okuleeta pikipiki 500 mu Uganda aziwe aba bodaboda bazivugire ku looni era ng'ataddewo n'omukutu gwe yabadde atuumye "Fika Powa" abaagala okutambulira ku boda­boda ezo gwe basobola okukozesa okuzitumya zibatambuze. Abadde yaakamala okuggulawo ofiisi e Ntinda w'abadde agenda okuddu­kanyiza bizinensi eyo.

Mu makaage e Najjeera ku nkingizzi za Kampala abadde asuzaawo emmotoka 8 ez'ebbeeyi z'abadde akozesa ne pikipiki ez'omulembe (BMW Sport Bikes) 4 kw'ossa endala bbiri ez'ekika kya Honda ne Yamaha.

Aba famire ye baagambye nti emmotoka abadde abeera na nyingi era ezimu ng'atera okuziguza bagagga banne.

Mu byobugagga ebirala by'abadde alina kuliko ettaka e Kayunga kw'alina ffaamu okuli embuzi ezisoba mu 300, ery'e Buwaate w'alundira embwa enzungu z'abadde atunda e Dubai, ettaka okuliraana Mutima Beach gy'abadde agenda kuzimba bbiici, ettaka e Jinja okuli Fakitole ekola obuwunga n'engano. Yalina n'ekyuma e Kawempe ekikola "Rannian Juice" wabula bizinensi bwe yalaba tekola bulungi magoba n'agivaamu.

Abadde mu bizinensi ya zzaabu era alina ekibangirizi kye yagula e Kisiita - Mubende gy'abadde asima zzaabu era nga kw'agatta oyo gw'abeera aguze ku bantu abalala.

ENGERI GYE YAKUBIDDWA ESSASI

Aba famire bagamba nti ku Lwomukaaga, Jabar yakedde ku ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital e Ntinda okulaba mukyala we abadde yaakazaala ka bbebi kaabwe (premature) wabula nga kaabadde kakyali kanafu era nga kalabirirwa mu nassale.

 Mikwano gya Ali Jabar nga giziika e Kololo eggulo.

Omuyambi we Robert Mayanja yattottodde nti:

Ku makya mukama wange yakedde ku nkubira ssimu ng'ayagala muvuge okuva awaka okumutwala ku ddwaaliro, nnakwa­tiddewo emmotoka gye nabadde nsuze nayo nyanguwe okumu­kima.

Kyokka nabadde nnaatera okutuuka, e Najeera gy'asula ate essimu yeemu eya mukama wange n'eddamu okunkubira kwe kugikwata muddemu nti "mukama wange nkutuseeko" ate nnawulidde mukazi we ng'akaaba nga angamba nti Zaina akubye bba wange essasi.

Nnawunze era emmotoka nag­ikyusizza bukubirire okutuuka ku ddwaaliro era nagenze okutuuka nga bamutadde ku katanda bamuk­kiriza mu "Theater" okumulongoosa n'angamba nti, "Mayanja omwana ankubye essasi" !

Kino yabadde yaakakimalayo omusaayi ne gu­fuuwa okuva mu kiwundu aba­sawo kwe kungobawo nti nabadde mwogeza.

Wabula yampereekerezza ebig­ambo nti "Naye kuuma bulungi em­mundu yange eyo, abaana tebagi­zannyirako" era ebyo bye byabadde ebigambo bye ebyasembyeyo!

Mayanja agamba nti yasanze ekisenge kyonna kibunye omusaayi nga n'emmundu eri mu ntebe awo, kyokka ate ne Zaina ng'agudde eri azirise era kigambibwa nti kyavudde ku nsisi gye yafunye ng'amaze oku­kuba Jabar essasi.

Mayanja yayongeddeko nti oluvannyuma yakitegedde nti Jabar bwe yatuuse mu ddwaaliro yasanze mulamu we azze oku­laba ku nnakawere era wakati mu kumusanyukira nti n'amugamba n'okumugamba nti "Twafunyeeyo n'emmundu okwongera okunwyeza ebyokwerinda byaffe".

 inisita  dong ku ddwaaliro lya ampala ndependent gye yagenze okukubagiza nnamwandu u ddyo ye asigire aduumira oliisi ya inja oad Minisita JJ Odong ku ddwaaliro lya Kampala Independent gye yagenze okukubagiza nnamwandu. Ku ddyo ye Kasigire aduumira Poliisi ya Jinja Road.

 

Kwe kugiggyayo n'agimulaga era nga bw'amulaga n'engeri gye bagikozesa n'engeri gy'okwata emmanduso ng'okuba omulabe aba akulumbye era mulamu we nti kwe kumusaba akwatemu alabe bw'ekola.

Jabar nti yasoose kugyiggyamu masasi nga bwamugamba nti, "Ka nsooke ngiggyemu amasasi, oyinza okusika emmanduso amasasi ne ga­toloka n'otta wano abantu kuba eno piisito nkola mpya, ewandula ama­sasi mangi ate mu kaseera katono". Bino mukazi wa Jabar ayitibwa Fatu Jabar ye yabitegeezezza Mayanja kubanga ye yabaddewo mu kasenge nga bino byonna bibaawo.

Engeri Jabar gye yabadde yaakafuna piisito eno, yabadde tamanyi nti waabaddewo essasi eryabadde mu "Chamber" nga lirinze bulinzi oku­fulumula era Zaina olwa­kutte ku manduso, essasi lyakubye omulundi gumu mu kifuba ku luuyi olwa kkono era ne likubira ddala ku mutima.

Bino byabaddewo ng'essaawa zikunukkiriza 6:00 ez'emisana ku Lwomu­kaaga era ekyaddiridde kasattiro ku ddwaaliro nga n'abasawo abamu baasoose kulowooza nti waliwo omutujju alumbye eddwaaliro.

Abantu ab'enjawulo beeyiye ku ddwaaliro okulaba ogubadde era oluvannyu­ma ne Minisita w'ensonga z'omunda Gen. Jeje Odongo naye yazze ku ddwaaliro. Kigambibwa nti Jeje ne Jabar babadde bamanyiganye bulungi.

 zimu ku mmotoka za li ze yalese mu maka ge Ezimu ku mmotoka za Ali ze yalese mu maka ge.

 

ABADDE N'ENTALO MUSANVU Z'ALWANA

Jabar w'afiiridde ng'alwana entalo musanvu mw'abadde attunkira n'abantu ab'enjawulo omuli n'abanene.

  • Abadde n'olutalo mu ddiiru za zzaabu era kigambibwa nti abamu ku mikwano gye abawerako baakwatib­wa gye buvuddeko ne bateekebwako emisango gy'okufuna ssente mu lukujjukujju n'obufere.

 

  • Entalo endala z'abadde alwana zirimu abawala b'abadde atwala ku kyeyo mu mawanga ga Buwalabu abamulumiriza okubaggyako ssente ate oluvannyuma n'abakuba bwe baamulumba okuzimubanja.

 

  • Abadde n'olutalo n'omukutu gw'amawulire ogwa NTV era abadde yassaayo empapula mu kkooti ng'ayagala omukutu ogwo wamu n'omusasi akolerayo bamuliy­irire ensimbi ezisukka mu kawumbi ng'agamba nti baamulebula bwe baamulaga nti akozesa paasipooti 4 ez'enjawulo era nti yali yeenyigira ne mu kukukusa abawala okubatwala mu Buwalabu.

 

  • Abadde n'olutalo olulala ne Am­bassada Dr. Rashid Yahaya Semuddu era olutalo luno nga lwekuusa ne ku mukyala wa Ssemuddu nga kigambib­wa nti Ambassada yali alumiriza Jabar okweyingiza mu nsonga z'amakaage. 
  •  Jabar era abadde n'olutalo n'abaserikale mu kitongole kya ISO era ekitongole ekyo kyamukwatako ku ntandikwa y'omwaka guno wabula n'ayimbulwa oluvannyuma lw'abanene mu gavumenti okubiy­ingiramu.
    Abadde attunka n'ensonga ze babadde baamussaako ezeekuusa ku butujju era ekitongole ekikessi mu magye nakyo kyamuk­watako ne kimuggalira wabula n'ayimbulwa oluvannyuma.

 

  • Abadde mu ntalo z'ettaka naddala ery'e Mubende gy'abadde asima zzaabu ng'attunka n'abagamba nti ekifo yakifuna mu makubo makyamu.

Abdu Karim Chickie yagambye nti Ali Jabar kitaawe ayitibwa Ali Jawaabu yali abeera Mbale kyokka yamuzaalira Soroti wabula bwe ya­mala okumuzaala namusuulira nnyina era Jabar yakulira ku buk­kojja kitaawe yamumanya akuze.

Nyina bwe yava e Soroti yasenga mu bitundu by'e Kakiri mu Wakiso era nga yalokoka n'akola Ekkanisa nga yamuzimbirwa mutabani we era n'abatuuze b'ekitundu n'abakolera oluzzi ku kyalo olw'om­ulembe kwe basena amazzi ng'abadde mu ntegeka ezibazimbi­rawo essomero.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti omuwala Zaina yakwatiddwa era ng'agenda kuggulwako omusango gw'okutta omuntu oguli ku fayiro CRB. 309/2019 ku poliisi ya Kira Road.

Yategeezezza nti emmundu eyasse Jabar ya kika kya "Glock Pistol" eri ku nnamba UG IND BONK 444 03175.

Yayongeddeko nti era bagenda kunoonyereza ne ku ddwaaliro lya Kampala Independent Hosipi­tal engeri gye bakkiriza omuntu okuyingiza emmundu mu kifo eky'olukale ng'eddwaaliro n'etuuka ne mu waadi omuli abalwadde abalala.

Naye yasabye abantu bonna abalina emmundu ez'obwannanyini okuzikwata n'okuzikozesa obu­lungi n'obwegendereza okwewala emitawaana egifaananako nga gino egiyiza okubalukawo akadde konna, ng'emmundu egenze mu mikono gy'omuntu omulala.

Jabar yaziikiddwa eggulo mu limbo e Kololo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...