TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w'eggombolola ye Ndagwe mu Lwengo aweze okukuba ba ssemaka abasabiriza

Ssentebe w'eggombolola ye Ndagwe mu Lwengo aweze okukuba ba ssemaka abasabiriza

Added 21st October 2019

Ssentebe w'eggombolola ye Ndagwe mu Lwengo aweze okukuba ba ssemaka abasabiriza

SSENTEBE w'eggombolola ye Ndagwe mu disituliiti ye Lwengo Junius Kateebe alabudde bassemaka abayitiriza okumusabiriza nga nabo balina emikono egisobola okwekolerera nga bwabakooye nabawa gabubwa batemeko emikono gyabwe babalibwe mu balema kuba omusaala Gavumenti gwemuwa ogw'emitwalo 30 tasobola kuzibagabira ne zibamala.
 
"Ssemeka omulamba n'odduka emmabega w'emmotoka y'omukulembeze nti omubaka bambi nsulirayo konsulideyo abaffe tukubalire mu bantu nabaki?
 
Tubaletera wano enkulakulana ya Gavumenti omuli emwanyi,embizzi,enkoko n'ebirala naye nemutafaayo kubinona mulowooza ffe obugagga tubujja mu musaala?
  
Kumulundi guno ngenda kutambula ne kibooko yange agezaako okundebeeta muwewenyule emiggo namwe abagumba ku w'ofiisi yange nga munswamiridde okunsabiriza sidamu kubalabayo.   ssentebe Kateebe bwe yategeezeza.
 
Ebigambo bino abyogeredde mu lukiiko olubadde lugendereddwamu okusomesa abantu kungeri gyebalina okweggya mu bwavu nga lutuuziddwa mu kabuga k'e Ndeeba.
 
Mungeri y'emu Kateebe aweze okuggala n'okusiba ba nnanyini mabaala abalemeddwa okugoberera ebiragiro ebyabawebwa eby'okugulangawo amabaala gabwe ku ssaawa 8:00ez'emisana n'okugaggalangawo ku ssaawa 4:00 ez'ekiro kyagambye nti bano bebavudeko obumenyi bwamateeka okweyongera mu kitundu.

Bo abakazi bawagidde endowooza ya sentebe wabwe Kateebe ey'okukuba babbabwe era nga balabiddwako nga bawanise emikono nga bagamba nti etekebwe munkola kuba bakooye abaami babwe okubaswaza nga kino kivudeko n'okusulangawo obuvunanyizibwa bwabwe mu maka..

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...