TOP

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Added 21st October 2019

Omumbejja Nassolo asiimye abaliko obulemu

Omumbejja Joan Nassolo acamudde abantu bwe yeetabye mu kukumba mu Kampala okujaguza emyaka 50 bukya ssomero ly'ebaana abaliko obulemu erya Kampala School for the Physically Handicapped litandikibwawo.

Abadde omugenyi omukulu era akulidde okutambula mu Kampala okuva mu Constitutional Square okutuuka ku KCCA abaana n'abantu abakuli abaliko obulemu gye baaniriziddwa dayirekita akulira eby'enjigiriza Juliet Namuddu Nambi.

Omumbejja asiimye bonna abeenyigira ku kutumbula eby'enjigiriza n'emizannyo mu ssomero eryo kubanga gyongera okuwa abagizannya obuvumu n'obulamu obulungi.

"Nja kwongera okubeera omubaka w'essomero. Nsiima abaalitandikawo, abaliddukanya, abasomesa, abazadde n'avujjirizi era liwa esuubi bw'olikyalira. Akulira essomero lino, Joy Mwesigwa agambye nti ebijaguzo eby'emyaka 50 bigendereddwamu okulaga eggwanga nti abaana abaliko obulemu basobola okusomesebwa n'okujjayo talanta zaabwe ne batendekebwa okuweereza ng'abalala.

"Ogwaffe tugubalaze. Kati twagala gavumenti ng'eyita mu palamenti eteekewo enkola abaliko obulemu basobole okuyigirizibwa obulungi mu masomero ga bulijjo," Mwesigwa bwe yategeezezza.

 Dayirekita wa KCCA Namuddu Nambi yagambye nti nkola ya gavumenti okutumbula amasomero ag'abaana abaliko obulemu.

"Tusiima MTN eyasonda ssente mu misinde ezaazimba kabuyonjo ku ssomero lino ku Balintuma Road e Mengo. Tulinayo abasomesa 13, twabazimbira ebibiina bisatu nga tutaddewo n'ekifo awakebererwa abaliko obulemu okulaba embeera zaabwe", Nambi bwe yategeezezza.

Emikolo eginaamala wiiki gijja kubeeramu okusaba, okulongoosa ekyalo gikomekerezebwe n'ebivvulu ebinakolebwa abaana abaliko obulemu ku Lwomukaaga ku ssomero eryo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....