TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

Added 21st October 2019

Abazigu balumbye omusomesa ne bamusalako obulago

 Omusomesa atiddwa amanyiddwa nga Hellen Nakanyiga

Omusomesa atiddwa amanyiddwa nga Hellen Nakanyiga

OMUSOMESA asaliddwako obulago oluvannyuma abatemu ne bamuvunika ku buliri bwe olwo ne bazaawo oluggyi lw'akazigo ke ne babulawo.

Ekikolwa kino kyaabaddewo mu kiro ekyaakesezza ku Ssande mu zooni ya Nsumbi mu ggombolola ya Wakiso mumyuka e Wakiso.

Hellen Nakanyiga 22, nga yali musomesa ku Amity S.S e Ganda wabula nga kati abadde asomesa mu ssomero erimu e Nansana ne Kasangati agataategerekese mannya, yattiddwa mu bukambwe abatemu abatannategerekeka ne bamusalako obulago omumiro ne gukutuka.

Ono baamulumbye ku ssaawa 9 ng'obudde bukya ku Ssande mu kazigo kabadde apangisa ku nnyumba za Saphan Muzoora mu zooni ya Nsumbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bugembe ng'abuulira enjiri mu kusabira omugenzi Yiga.

Jjengo tolwana ntalo za kit...

Omusumba w'Ekkanisa ya Worship House e Nansana akubirizza Omusumba w’Ekkanisa ya Revival Christian Church Kawaala,...

Abakuumaddembe nga bakunguzza omuvubuka.

Abaabadde bakola effujjo mu...

Abavubuka abaagenze mu kuziika omugenzi Pasita Yiga Abizzaayo e Kawaala ku Lwomukaaga kyokka ne badda okunoonyeza...

Abatuuze nga basobeddwa mu lusuku lwa munnaabwe olwasaayiddwa.

Abantu ab'ettima basaayidde...

ABANTU ab'ettima abatannaba kutegeerekeka bakakkanye ku lusuku lw'omutuuze Jane Namakula 45, ow'e Kyassenya oluwezaako...

Katikkiro Mayiga awabudde a...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Abakyala nga bagabana ssente ze bazze batereka.

Omuntu anaakulaakulana alin...

ABAKUGU bagamba nti omuntu anaakulaakulana alina okweresa n’afissa ku ssente z’afuna n’atereka okusobola okugaziya...