TOP

Mwewale okufiira ku mirimu gy'okukozesebwa

Added 21st October 2019

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera olw'okulya enguzi

 Collin Kayiwa (owookusatu ku ddyo) ng'asala keeki ne banne ku kabaga akamukoleddwa okumukulisa emisomo

Collin Kayiwa (owookusatu ku ddyo) ng'asala keeki ne banne ku kabaga akamukoleddwa okumukulisa emisomo

Bya Lilian Nalubega

Omukulu w'ekika ky'ekkobe, Omutaka Augustine Kizito Mutumba Nnamwama akkaatirizza obukulu bw'okusomesa abaana ku mitendera egy'enjawulo n'agamba nti, kino tekiganyula asomye yekka ne bakadde be wabula eggwanga lyonna.

 namwama utumba ngauogera ku mukolo Nnamwama Mutumba ng'auogera ku mukolo

 

Mutumba yasinzidde ku mukolo gw'okwebaza Katonda olw'omwana Collins Kayiwa okufuna diguli mu ssomo lya Procurement and Logistics Management okuva mu yunivasite e Ndejje. Yategeezezza nti, eky'okusomesa abaana gwe mulanga Ssaabasajja Kabaka gw'akulembeza bulijjo nga kigwanidde abazadde okukissa mu nkola bagunjule eggwanga.

"Kya buvunaanyizibwa abazadde okumanya ebirungi ebiri mu kusomesa abaana amasomo g'ebyemikono kubanga abagasoma tebejjusa ate nga n'ebiseera ebisinga tebabulwa mirimu olw'obukugu bwe bafuna," Nnamwama Mutumba bwe yagambye.

Bazadde ba Kayiwa nga bakulemberwamu kitaawe Henry Ssenjobe baakubye abayizi abaamaliriza emisomo akaama nti, bwe baba baagala okufa nga basanyufu balina okwewala okufiira ku mirimu gy'okukozesebwa.

 assenjobe bazadde ba ayiwa wakati nga bali ku kabaga ka mutabani waabwe Bassenjobe bazadde ba Kayiwa (wakati) nga bali ku kabaga ka mutabani waabwe

 

"Okukozesebwa n'okaddiwa ng'okozesebwa ofa oli mukopi era omwavu. Mulowooze ku ky'okwekozesa nga mukyali mu myaka emito eby'okulowooleza mu mirimu gy'okusasulwa omusaala omugereke tebiggya kubagasa mpozzi nga mwagala kukomekkerereza mu kkomera nga mulidde enguzi," abazadde bwe baagambye.

Kayiwa yeebazizza bakadde be okumusomesa era n'asuubiza okukola abasasule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...