TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kenzo afulumizza oluyimba ku maamawe eyamulangirwa Sheikh Muzaata

Kenzo afulumizza oluyimba ku maamawe eyamulangirwa Sheikh Muzaata

Added 22nd October 2019

EDDY Kenzo afulumizza oluyimba ku maamawe eyamulangirwa Sheikh Nuuhu Muzaata Batte nti agende amuwase nga mulimu ebitundu ebiraga obuzibu bwe yajja ayitamu ne nnyina ono eyafa emyaka egisoba mu 20 emabega.

Mu luyimba luno Kenzo alaga nnyina ng'omuntu ataali bulungi mu mbeera naye ng'afuba okumubeezaawo era wadde nga kati taliiwo kumulaba bw'ali bulungi olw'ekyo kye yamutuusaako, akimanyi yonna gy'ali nti amuweesa ekitiibwa era amulwanirira ku abo abamulinnyirira (ng'ategeeza ba Muzaata.)

Mu bunyiivu wiiki ewedde Kenzo yabadde ayogera ku Muzaata era eyamulangira nga bw'ali ssemyekozo eyalemwa okuwasa Rema Namakula kati eyafuna Hamza Sebunya, yategeezezza nt oluyimba luno aluleese kulwanirira kitiibwa kya nnyina ekyalinnyirirwa Muzaata.

Wadde nga yategeeza nga bw'alekedde awo okulumba Muzaata olw'okugaana okumwetondera n'ategeeza ng'ekiddako bw'ajja okukitegeeza abawagizi be ng'amaze okutuuka mu Uganda (asuubirwa leero ssaawa musanvu ku kisaawe e Ntabe), yategeeza nti buli ky'anaddako okukola, ajja kukiwunzika n'ekigambo ‘Good to apologise' ekitegeeza nti kirungi okwetonda.

Ne bwe yabadde ateeka oluyimba luno lwe yatuumye Congz maama ekitegeeza maama kulika, ku mukutu gwe ogwa Facebook kwe yalufulumirizza, ekigambo ekyo kye yasembezzaayo.

Ekyewuunyisizza abaaluwulidde ate by'ebigambo bye yazzeemu ng'ategeeza nga maama yekka bw'alina laavu eya ddala ate ng'ebyo bye bimu ku byavaako obuzibu bwe yategeeza ng'ekimu ku bimulemesa okuwasa nti yali akyanoonya mukyala alina laavu yennyini ng'eya maama we.

Wano ne Muzaata we yava okumulangira okuwasa nnyina.

OLUYIMBA LUGENDA BWE LUTI:
 
Ekitundu I
Mama I know you know better,
Mama I know you know where
I came from,
Mama you know the real
meaning of love
Every one yali ng'essuubi
talina,
Naye nga gwe maama topowa,
Naye kati wano wetuli birooto,
 
EKIDDIBWAMU
Congz maama, bino bye tulimu
birooto,
Congz maama, oliyoliyoliyo,
Bino bye tulimu birooto,
Maama maama maama maama,
Maama, maama, maama,
 
Ekitundu II
Oyo maama, mujukira ebiseera
biri, nga tetumanyi na kiddako,
Ng'embeera yakaawa,
Ekitundu III
Owange maama lusozi, maama
mugezi, maama mukozi,
Owange maama mukazi,
Yagumira enaku,
Kati alina ku ssanyu.
 
Ekitundu III
Tezifudde agenda na lusoggo,
Twandiba nga si ffe abasinga naye
tulina we tutuuse,
Tulina we tutuuse, congz maama,
ye maama, congz maama, yerere
maama. Ye, ye, yeye, yeye..
 
EBIRALA........

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Rugunda

Gavt. eragidde bassentebe b...

KATIKKIRO wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda alabudde nti, obulwade bwa Corona kati buli ku mutendera omuzibu era n'asaba...

Okuva ku kkono Ying. Ronald Kibuuka, Jolly Kamishani,Margaret Kaziimba ne Can. Dr. Ruth Senyonyi e Namirembe.

Kkanisa ya Uganda etongozza...

EKKANISA ya Uganda etongozza kaweefube w'okulwanyisa ebikolwa by'okutulugunya abantu ng'abatulugunya basinziira...

Ainembabazi (ku kkono), Kasozi ne Nantongo (ku katono) nga bali ku poliisi.

'Nnina obukakafu ku bwenzi ...

OMUKAZI addukidde ku poliisi n'aloopa munne bwe basula ku mizingo olw'okumwogerako nga bw'ali malaaya ng'ate mufumbo....

Pulezidenti Museveni (ku kkono) ng’aggulawo ekkolero ly’amasannyalaze erya Mobile Substation 132-33kV,50MW mu kibangirizi ky’amakolero e Mbale ku Lwokusatu.

Museveni asuubizza okuwa ab...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abooludda oluvuganya tebayinza kumuwangula n'awa abavubuka amagezi obutaboonoonerako...

Abantu bonna balagirwa okwambala masiki.

By'olina okukola okwewala C...

COVID-19 KYE KI? Buno bulwadde obukwata okuva ku muntu omu okudda ku mulala, abulina ssinga okwata mu kifo awagudde...