TOP

Poliisi ekutte abazigu 9 n'emmundu 4

Added 22nd October 2019

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda n’okuzuula emmundu nnya ze babadde bakozesa.

POLIISI egudde ku kabinja k'abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n'ekwatako mwenda n'okuzuula emmundu nnya ze babadde bakozesa.

Okugwa ku kabinja kano kyaddiridde poliisi okukwata Gerald Nsubuga ng'ono y'omu ku baalumba amaka ga Joshua Allan Mwesigwa e Bwebajja nga October 10, 2019 ne babba ebintu.

Ono ye yaloopye banne olwo poliisi n'esitukiramu okubakwata. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti oluvannyuma lwa Nsubuga okuwaayo banne, abaserikale baakoze omuyiggo ne bakwata abalala okuli David Mawanda eyeeyita Kisekka ne Kennedy Nkesiga.

Bano be baawaddeyo bannaabwe abatigomya ab'e Ntungamo.

Enanga yagambye nti abaserikale ba poliisi eyaabulijjo nga bayambibwako aba Flying Squad baagenze e Ntungamo ne bakwata abasajja mukaaga.

Bano baasangiddwa n'emmundu bbiri ssaako ppikippiki n'obukookolo bwe bambala okukweka ffeesi zaabwe nga bakola misoni zaabwe ez'okubba.

Abakwatiddwa e Ntungamo kuliko; Augustine Tumwine, Rogers Kalenzi, Obadia Nuwagaba, Fred Bahati, Brian Mbogo ne Sam Nkuruziza.

Ono alina amaka mu Kampala, Sembabule ne South Afrika. Baamusanze n'emmundu emu egambibwa okuba nga yagiggya Congo.

Enanga yagasseeko nti abasajja bano poliisi ebalinako obujulizi nti be beenyigira mu bunyazi obwaliwo nga September 10, ne 25, 2019 mu bitundu by'e Ntungamo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...