TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebipya bizuuse ku mugagga eyattiddwa mu ddwaaliro

Ebipya bizuuse ku mugagga eyattiddwa mu ddwaaliro

Added 22nd October 2019

GEN. Jeje Odongo yagenze mu ddwaaliro ng’ayagala okuzuula ekituufu ku ngeri mukwano gwe gye yakubiddwa essasi ne limutta mu ddwaaliro lye limu eryo.

Omugagga Alseyed Ali Abdul Jabar 37, abeera e Najeera okumpi n'e Ntinda yakubiddwa mulamu we essasi ng'akozesa pisito ya Alseyed ku Lwomukaaga.

Bino okubaawo, muka Alseyed yazadde omwana akyabulako (premature) mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital e Ntinda. Bba yabadde agenze okulaba mukyalawe ne bebi, kyokka n'awa mulamu we Zaina Karama (muganda wa mukazi we) pisito eyavuddemu essasi ne likuba Alseyed mu kifuba. Kigambibwa nti yagambye nti yamukubye mu butanwa.

Poliisi ebuuliriza engeri Alseyed gye yayingizza emmundu mu ddwaaliro wadde nga waliwo amateeka agakugira okuyingiza emmundu oba ekissi kyonna mu ddwaaliro oba ekifo ky'olukale.

Poliisi yabadde etandise okubuuliriza kyokka Jeje Odongo nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga (era atwala poliisi) n'atuuka ku ddwaaliro. Yabadde ne pisito ku kabina ng'eri bweru n'ayingira nayo butereevu mu ddwaaliro mu kisenge we baakubidde Alseyed essasi.

Omugenzi eyaziikiddwa mu limbo e Kololo abadde mukwano gwa Minisita Odongo era nga May 15, 2018, Odongo yawandiika ebbaluwa eyanjula Alseyed eri be kikwatako okuwa obuyambi bwonna obwetaagisa eri Alseyed ng'omukozi mu ofiisi ye akola ku nsonga z'ebyokwerinda.

 maka ga abar Amaka ga Jabar

Alseyed era abadde n'enkolagana n'abanene mu Gavumenti.

Abadde addukanya kkampuni etwala abantu ebweru okukola.

Omwaka oguwedde, waliwo akatambi akaakwatibwa e Dubai nga kalaga Alseyed akuba ebikonde omuwala Munnayuganda Barbara Naluwooza.

Kigambibwa nti, Naluwooza yawa Jabar ssente ze Dirham 8,000 mu za Uganda obukadde 8- ng'amusuubizza okumufunira omulimu mu kkampuni y'amasimu e Dubai eya Etisalat Telecommunication.

Omuwala agamba nti bwe yatuuka e Dubai, yatwalibwa mu ofiisi okukola nga si kkampuni gye yali amusuubizza.

Bwe yasaba Alseyed amuddize ssente ze, yayanukula mu ngeri ebuzaabuza. Omuwala yalemerako olwo Alseyed n'amukuba.

Naluwoza teyali yekka, waliwo abawala abalala Bannayuganda, ab'e Nigeria, Cameroon abamubanja.

Omuwala Munnayuganda omulala Becky Nakibuuka eyakwata ebifaananyi naye yamukuba bubi nnyo.

Engeri omukazi gye yasse omugagga Jabar

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo