TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga eyakubiddwa essasi afudde anoonyezebwako ku misango gy'obutujju

Omugagga eyakubiddwa essasi afudde anoonyezebwako ku misango gy'obutujju

Added 22nd October 2019

Omwaka oguwedde, Jabar Alseyed yakwatibwa abajaasi b’ekitongole kya CMI ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku by’obutujju. Baamwaza n’asangibwa ne pasipooti ssatu ez’amawanga agenjawulo nga yonna alinayo obutuuze.

 Jabar Alseye

Jabar Alseye

Yaggulwako emisango emirala okuli okubba ssente, obutujju, obukumpanya. CMI yamuggalira okumala ennaku ne bamukwasa ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kibuli gye baamuyimbulira ku kakalu ka poliisi.

Azze aggulwako emisango okuli poliisi y'oku kisaawe e Ntebe eyamuggulako egy'okubba ddoola 150,000.

Ekiragiro ekikwata Alseyed kyateekebwako omukono gwa Delley Jonson Ola akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Kampala n'emiriraano.

Mu August wa 2017, eyali amyuka dayirekita wa poliisi y'ensi yonna, Elly Womanya yawandiikira poliisi e Tanzania okukwata Alseyed eyali ateeberezebwa okuba mu nsi eyo oluvannyuma lw'okubulankanya ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....