TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa y'omugagga Alseyed Ali Abdul Jabar

Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa y'omugagga Alseyed Ali Abdul Jabar

Added 22nd October 2019

AMAZE ekiseera ng’atambulira mu kutya. Emirundi mingi wadde alina emmotoka nnyingi awaka, abadde azirekawo n’atambulira ku boodabooda.

Ku by'omuwala eyamukubye essasi, ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Zaina Karama yasoose kuzirika kyokka eggulo yafunye amaanyi.

Poliisi yamugguddeko omusango ku fayiro CRB 309/2019 gwe yagguddewo. Era waakuggyibwako sitetimenti annyonnyole ebyabaddewo.

Kyokka, ebibuuzo ku nfa ya Jabar byeyongedde oluvannyuma lw'abakugu mu poliisi okwekkaanya we baamukubidde essasi.

EBIZUUSE KU KUTTIBWA KWA JABAR EBIMU KU BYEBUUZIBWA

  • Emmundu eyakubye UG IND BONK 444 03175. Glock pistol Alseyed yagifuna mu wiiki bbiri zokka.
  • Enkuba gye yakubiddwamu essasi wadde kigambibwa nti lyamukubye mu butanwa.
  • Lwaki omuwala atakwatanga ku mmundu era yakubye mu kifuba ku mutima.
  • Obunafu obwalagiddwa olwo Jabr n'ayingiza emmundu mu ddwaaliro ery'ekikungu erikuumibwa nga tayaziddwa?
  • Ddereeva we yagambye nti yamukubidde essimu amutwale mu ddwaliro kyokka essimu gye yazzeemu okufuna yabadde ya mukazi we ng'amutegeeza nti bba akubiddwa essasi. Yagenze atya mu ddwaaliro nga ddereeva gwe yakubidde okumunona amulese mabega?
  • Poliisi yebuuza oba ddala essasi lyakubiddwa mu butanwa oba gwabadde "mupango"
  • Kiyinzika okuba nga yabadde talina bukugu bwayo ekyavuddeko okugiraga mulamu we mu ngeri y'okweraga n'atuuka n'okugimuwa naye agizannyise?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono