TOP

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja

Added 22nd October 2019

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta ebibonerezo eri abamala gamansa kasasiro ekivuddeko obujama n’okwonoona obutonde bw’ensi naddala mu bibuga

 Minisita atalina mulimu gwa nkalakalira Mary Karooro ng’ayogera.

Minisita atalina mulimu gwa nkalakalira Mary Karooro ng’ayogera.

‘'Abantu bagenda bamansa kasasiro buli we basanze. Bamala gakasuka bucupa lwa mazzi  ekivuddeko emyala okuzibikira,'' Karooro  bwe yagambye.

N'agamba nti omulimu  gw'okubaga etteeka lino gwali gutandikiddwa palamenti kyokka gavumenti yagweddizza.

Karooro yagambye nti gavumenti yalagidde minisitule y'ebyamazzi ne gavumenti z'ebitundu okubaga etteeka erigenda okulwanyisa omuze guno.

Yabadde abuulira bannamawulire ku by'okukuza olunaku lw'ekibiina ky'amawanga amagatte olubaawo October 24.

N'ategeeza nti n'olukiiko lwa baminisita ba Uganda lwatudde ne lukubaganya ebirowoozo ku ngeri y'okutuukiriza ebigendererwa by'ekibiina ky'amawanga amagatte ebikwata ku kuggyawo embeera yonna enyiga abantu ng'omwaka 2030 we gunaatuukira ebimanyiddwa nga ‘Sustainable development Goals.'

Embeera erwanyisibwa mulimu; okulwanyisa obwavu,ebyobulamu ebibi,okutumbula ebyenjigiriza,obuyonjo n'amazzi, okutumbula enkulakulana n'okulwanyisa ebbula ly'emirimu, okuzimba enguudo n'ebirala ebiyamba abantu,okubunyisa omwenkanonkano ,okulwanyisa enkyukakyuka mu mbeera z'obudde  n'ebirala.

Karooro eyabadde n'omukungu w'ekibiina ky'amawanga amagatte atuula mu Uganda Rosa Malango yagambye nti ensonga zino gavumenti ya Uganda ezikwasizza maanyi era egenda kusomesa Bannayuganda ku nsonga zino.

Gyo emikolo gy'okukuza olunaku lw'ekibiina ky'ensi yonna gijja kubeera kubeera ku kisaawe e Kololo nga gisuubiewa okukulemberwa Pulezidenti Museveni nga October 24.

Ate nga October 27 wajja kubaawo okudduka okuli ku mulamwa gw'okulaba nga Kampala abaamu empewo ennungu nga gijja kusibulwa omukama wa Bunyoro Oyo Nyimba Kabamba Iguru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...