TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza ku nguudo ssente n'ebyokulya waakusibwa - Minisita

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza ku nguudo ssente n'ebyokulya waakusibwa - Minisita

Added 22nd October 2019

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa ng’awa abaana abatayayiza ku nguudo z’omu Kampala n’ebibuga ebirala ssente n’ebyokulya wakusibwa.

 Minisita Florence Nakiwala Kiyingi

Minisita Florence Nakiwala Kiyingi

Nakiwala yagambye nti waliwo amateeka agasobola okuyitibwamu okuvunaana omuntu yenna anaakwatibwa ng'ayamba okulemeza abaana ku nguudo naddala ng'ayita mu kubawerako eby'okulya ne ssente era bwatwalibwa mu kkooti ne gumukka mu  vvi asobola okusibwa oba okuwesebwa engasi.

Bino yabigambye bannamawulire ku Media Centre ng'ababuulira ebyatuukiddwaako olukiiko lwa baminisita olwatudde mu ofiisi ya Pulezidenti.

Nakiyingi yagambye nti waliwo ebbago ly'etteeka eddala eryayisibwa KCCA kyokka nga likyabulako mukono gwa loodi meeya erigenda okussibwa mu nkola okulaba ng'ekizibu ky'abaana b'okunguudo kisalirwa eddagala.

Kiyingi yagambye nti olukiiko lwa baminisita lwawadde ne gavumenti z'ebitundu naddala disitulikiti amagezi okuyisa amateeka agaazo okulwanyisa abaana b'oku nguudo.

Era ne lukiriza okuwa minisitule y'ekikula ky'abantu obuwumbi obunukunkiriza mu mukaaga okukola ku kizibu ky'abaana b'oku nguudo.

Nakiwala yagambye nti okuva mu June w'omwaka guno abaana 725 be bakaggyibwa ku nguudo z'omu Kampala ne batwalibwa mu bifo gye bakubuumirwa.

Kyokka n'ategeeza nti olw'ebbula ly'ensimbi minisitule ye ebadde tenatuuka mu bifo birala nga Wakiso n'ewalala okuggya abaana ku nguudo.

Yagambye nti abaana abasing ku nguudo z'omu Kampala tebakyaliko era entegeka zikolebwa okulaba ng'ekizibu kino kituuka okufumwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...