TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okulabirira enkoko, ebyennyanja n'ebisolo ng'okozesa amamera g'obulo

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okulabirira enkoko, ebyennyanja n'ebisolo ng'okozesa amamera g'obulo

Added 23rd October 2019

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okulabirira enkoko, ebyennyanja n'ebisolo ng'okozesa amamera g'obulo

 Omukozi wa Prof Bioresearch ng’alaga amamera.

Omukozi wa Prof Bioresearch ng’alaga amamera.

WIIKI ejja ku Lwokuna lwe lunaku mulindwa olw'omusomo gwaffe ogwa The Great Sundowner ogugenda okubeera ku Sharing e Nsambya. Ggwe atabeeranga mu musomo guno obadde osubwa bingi, ggwe abadde akoma okusoma emboozi zino mu mawulire ebintu ogenda kubyerabirako mu Bukedde.

Leero njagala kukusunirako ku bigenda okubaayo era ekimu ku bigenda okusomesebwa ge mamera g'obulo.

Bw'oba otunuulira ebyafaayo bya Nambi bwe yeerabira obulo bw'enkoko ze era n'addayo okubunona, ekitegeeza enkoko z'Omuganda zaalyanga bulo era nga mulimu ebiriisa ebyaziyambanga okukula ate nga tezirwadde.

 Amamera gajjudde ebiriisa n'eminnyo egiyamba omubiri, abantu abalya akalo n'abanywa Obushera obulamu bwabwe bweyagaza ka babeere bakyala eyo mu kisenge baba bulungi kubanga bwoza obutoffaali ne basumulukuka. N'omugagga Bill Gates bwe yali e South Afrika yakubiriza abaddugavu okwongera okulya obulo n'ebibukolebwamu.

Sso nno edda baayimbamu obuyimba obw'obulamu nga aka 'Nakato leka tweriire obulo bwaffe obw'obulamu....' Kyokka bw'okola amamera, okubisaamu ebiri mu migaso gy'ofuna bw'olya akalo.

Amamera gano tugalima era ne tugakugulako 5,000/- buli kkiro. Bw'osimba ku lusaniya kkiro 7, osobola okufuna emitwalo 10, kubanga ofunamu kkiro 21, ate omwezi n'ofuna emitwalo 40.

Abantu bangi bagalimye era bagafunamu kubanga ffe katale. Ate amamera gano gakulira ennaku 7 zokka. l Ne bw'oba togatuguzizza, ate osobola okugaliisa enkoko oba ebisolo n'ofunamu. Enkoko zigejja ate azongeramu Calcium okugumya amagumba, Vitamiini K agiyamba okubiika ennyo, Vitamiini E agiyamba obutalwala ate erimu ebiwuziwuzi ebiyamba okukuba obulungi emmere gy'ebeera eridde.

Osobola okugaliisa embizzi, ente, embuzi n'obumyu kuba bijja kugejja ate bifune amata nga mangi. Olw'okuba omuddo mu kyeya tegulabika, mu nkuba eno simba obulo bw'ojja okukungula obukolemu amamera mu kyeya.

Amamera g'obulo tegakoma awo, osobola okugawa ebyennyanja bijja kugejja obikungule mangu.

Ebisinga awo tujja kubisanga mu musomo gwaffe ogwa Sundowner ogukomyewo tuddemu okuyiga bwe bagattako omutindo. Tugenda kubeera ku Sharing e Nsambya. Mu musomo gwa 'The Great Sundowner' ku Lwokuna olujja nga October 31, 2019.

Tujja kuyiga ebintu eby'enjawulo omuli; enkuuma y'amatooke amawaate, okwekolera ebirungo by'enkoko n'okekkereza, enteekateeka y'ekitiko (Cumbucha), amamera g'obulo abakola emmere y'ebisolo, okulunda ebiwuka ng'emmere y'ebyennyanja n'enkoko, ennima ya Rosemary n'okukamulamu butto n'ebirala.

Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...