TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwendo gwa Bannyuganda abakozesa kondomu gukendedde

Omuwendo gwa Bannyuganda abakozesa kondomu gukendedde

Added 24th October 2019

BANNAYUGANDA bongedde obutakozesa kkondomu nga bali mu mukwano, ekyongedde abalwadde ba mukenenya mu ggwanga.

 Kondomu.

Kondomu.

Bya KIZITO MUSOKE
 
BANNAYUGANDA bongedde obutakozesa kkondomu nga bali mu mukwano, ekyongedde abalwadde ba mukenenya mu ggwanga.
 
Okusinziira ku Daniel Byamukama, akulira eby'okwewala okukwatibwa siriimu mu kitongole kya Uganda Aids Commission, abantu abakozesa kkondomu bazze bakendeera buli mwaka mu myaka 15 egiyise.
 
Okuzuula bino baabadde bali ku nkola eyatandikibwawo gavumenti mu 1990 ey'okulwanyisa obulwadde bwa siriimu eyitibwa Strategy to Combat HIV/Aids.
 
Mu nteekateeka eno, okukozesa kkondomu kyatunuulirwa ng'ekyomugaso ennyo era gavumenti n'etandika okukubiriza abantu okubwettanira nga n'ezimu egaba za bwereere.
 
Okunoonyereza kulaga nti mu 2000, abantu abaali bakozesa obupiira baali 60 ku 100, kyokka we gwatuukira 2016 nga bakendedde okutuuka ku bantu 52 ku 100.
 
Omwaka oguwedde, abantu 53,000 abali wakati w'emyaka 15 ne 24 be baafuna akawuka ka siriimu.
 
Abantu tebakyatya bulwadde olw'okubumanyiira era kizibu mu kiseera kino okwawula omulwadde n'atali.
 
Abalala beeyinula olw'eddagala eriyambako okuweweeza ku bulwadde. Waliwo n'abantu abalina enkola y'okusooka okukebeza bannaabwe nga tebannaba kugenda mu nsonga za mukwano.
 
Ab'ekika kino kizibu okukozesa obupiira kuba balowooza nti babeera bakakasizza abaagalwa baabwe.
 
Abantu abamu bwe balwala basalawo okufuna balwadde bannaabwe. Bangi bagamba nti olw'okuba baba baalwala dda tekirina mugaso gwa kwesabika.
 
Jannipher Naluyima ow'e Kasubi yawabudde abakola kkondomu bakomye okukola obw'obuwoowo era ye yasalawo kusooka kwekebeza nga tannaba kugenda wala mu bya mukwano.
 
Minisita w'ebyobulamu ebisookerwako, Joyce Moriku yagambye nti, Gavumenti egenda kukola okunoonyereza bazuule ekigaana abantu okukozesa obupiira n'oluvannyuma baveeyo n'amagezi amapya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannabyamizannyo tuleme kus...

LIIGI z’emizannyo zigenda ziddamu okukwajja era kiraabu nnyingi kati zitendekebwa. Empaka z’Amasaza zo mwattu zaagondedde...

Abaserikale abaabadde balawuna ekitundu.

Okulonda e Njeru tekujjumbi...

Okulonda mu mu munisipaali y'e Njeru kusoose kutaataaganyizibwa nkuba ekedde okufuddemba era abalonzi obwedda baamuswaba...

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Owa NUP gwe baasiba mu kkom...

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n’atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala. Bazadde...

Emmanuel Sserunjogi ng'akuba akalulu.

Abakadde bajjumbidde okulon...

ENKUBA yataataaganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala....

Abantu nga basitudde Kibirango eyawangudde obwassentebe.

NUP yeeriisizza nkuuli e Lu...

EKIBIINA kya NUP kyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa gavumenti ez’ebitundu mu kitundu ky’e Luweero nga ku...