TOP

Yeemulugunyizza ku nkwata y'omusango gw'obutemu

Added 24th October 2019

KITAAWE w’omuwala Stella Nanfuma eyattibwa mu bukambwe mu bitundu by'e Masuliita yeemulugunyizza olw’engeri omusango gwa muwala we gye gukwatiddwaamu.

 Segawa  (ku kkono)  Nyanzi ne Kaweesa (ku ddyo) mu kkooti e Wakiso

Segawa (ku kkono) Nyanzi ne Kaweesa (ku ddyo) mu kkooti e Wakiso

 
KITAAWE w'omuwala Stella Nanfuma eyattibwa mu bukambwe mu bitundu by'e Masuliita yeemulugunyizza olw'engeri omusango gwa muwala we gye gukwatiddwaamu.
 
Fred Kanyike kitaawe wa Nanfuma yategeezezza nti Kkooti Enkulu etuula e Wakiso yatandika bulungi omusango gwe naye ate mu makkati gutandise okuvulugibwa.
 
Kanyike yagambye nti we baatwalibwa okuwa obujulizi, omuwaabi wa kkooti enkulu e Wakiso, Ivan Ndiwalana yategeeza nti omusawo eyakebera omulambo tagenda kuwa bujulizi nga kkooti yakukozesa ebbaluwa omusawo gye yawandiika era ng'eno yaleetebwa dda mu kkooti. Kati yeewuunya okulaba ng'ate bagamba nti omusawo alina okujja mu kkooti awe obujulizi.
 
Abavunaanibwa okutta omuwala kuliko Ibrahim Kaweesa, Erick Segawa ne Isma Nyanzi 
Mu kkooti eyatudde ku Lwokubiri, omulamuzi wa kkooti enkulu, Damalie Lwanga yabasomedde omusango wabula ne bagwegaana. Omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso, Emilly Ninsiima yategeezezza omulamuzi nti simwetegefu mu musango guno nasaba gwongezebweyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...