TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakoze ekikwekweto ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero ne babowa amasimu

Bakoze ekikwekweto ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero ne babowa amasimu

Added 24th October 2019

ABANTU 350 bebakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amaggye mu Kampala.

 Amasimu agaboyeddwa nga bagasibye mu makutiya.

Amasimu agaboyeddwa nga bagasibye mu makutiya.

Bya PONSIANO NSIMBI ne LAWRENCE MUKASA

ABANTU 350 bebakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi n'amaggye mu Kampala.

Bino byogeddwa omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enang mu lukungana lwa bannamawulire ku CPS ng'ategeezezza nti ebikwekweto bino biyindidde e Katwe mu basuubuzi ba sipeeya wa piki piki ne bamakanika era ng'eno abantu 250 be bakwatiddwa ne sipeeya awerako.

 

alt=''

 

Ate mu kibuga wakati embeera ebadde ya bunkeke naddala ku luguudo lwa William Street ne Ben Kiwanuka oluvannyuma lwa poliisi n'amagye okuzinda ebizimbe eby'enjawulo we bakanikira n'okutunda amassimu okuli Cooper Complex ng'eno abantu 70 bebakwatiddwa n'amasimu 1600 ate ku Mutaasa Kafeero abantu 30 n'amasiimu agatanategerekeka muwendo bye biboyeddwa.

alt=''

 

Ebizimbe ebiriranyewo okuli Majestic, Kizito Towers, Kalungi Plaza, Temuseo Mpoza Plaza ne Mutaasa Kafeero tewabadde muntu akirizibwa kuyingira yadde okufuluma era ng'emiryango gyonna gibadde gye bunguluddwa abaserikale.

 

Abakwate bakuumirwa ku poliisi ez'enjawulo okuli Katwe, Old Kampala ne CPS ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...