TOP

UCU etikkidde abayizi 1,156

Added 25th October 2019

Yunivasite y'Obukulisitaayo eya UCU e Mukono etikkidde abayizi 1156 ku matikkira gaayo ag'omulundi ogw'amakumi abiri ekitundu eky'okuna.

BYA HENRY NSUBUGA NE ERIC YIGA

Abayizi abawala be basinze obungi ku batikkiddwa nga bali 656 nga bye bitundu 57 ku 100.

Abayizi 32 bafunye ddiguli ezisukkulumye ku ndala (first class degree) nga ne ku bano, 17 bawala.

Ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali nga ye cansala wa UCU ow'okusatu gano ge matikkira gaasembyeyo okubeerako mu kifo ekyo oluvannyuma lw'ennyumba y'abalabirizi okulonda Bp. Stephen Kazimba Mugalu ng'agenda okumuddira mu bigere nga Ssaabalabirizi ow'omwenda ate cansala wa UCU ow'okuna.

Ntagali asiimye amyuka cansala Dr. Canon John Senyonyi olw'enkolagana ennungi gy'abadde nayo gyali ebbanga ly'amaze mu kifo ky'obwacansala nga kino kye kisobozesezza emirimu ku yunivasite okugenda mu maaso.

Ntagali asabye abatikkiddwa okwewala okuguuka emisege nga batuuse mu woofiisi n'abasaba okukulembeza Katonda gye banaafuna emirimu olwo obulamu busobole okubagondera.

 

 

alt=''

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...