TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Temuddamu kumbuuza bintu bya Kenzo nabivuddemu-Sheikh Muzaata

Temuddamu kumbuuza bintu bya Kenzo nabivuddemu-Sheikh Muzaata

Added 27th October 2019

Temuddamu kumbuuza bintu bya Kenzo nabivuddemu-Sheikh Muzaata

 Sheikh Nuuhu Muzaata

Sheikh Nuuhu Muzaata

Sheikh Nuuhu Muzaata agambye nti ebya Kenzo yabivuddeko, kati ali ku nsonga ndala ezitwala Obusiraamu mu maaso.

Sheikh Nuuhu Muzaata Batte nga y'akulira Ddaawa mu Uganda, yalumbye Bannayuganda be yayogeddeko nti bamwetayirira nga bamubuuza bw'ayimiridde ku nsonga ze n'omuyimbi Edirisa Musuuza, amanyiddwa nga Eddy Kenzo n'agamba nti ensonga ezo yazivuddeko era kati ali ku nsonga ndala ezizimba Obusiraamu.

Yabadde ku Muzikiti oguyitibwa Tawbah e Kyengera mu disitulikiti y'e Wakiso oluvannyuma lw'okusaaza esswala ya Juma ku Lwokutaano.

"Neewuunya ate ne nsaasira nnyo abantu abamala ebiseera nga bankubira obusimu mbu bambuuza ku nsonga ezitaggwa. Mubangambire nti nze ebyo bye mwagala njogereko sikyabiriko.

Mwesiba mutya ku bintu ng'ebyo ne bibamalamu mwenna ng'abatalina bya kukola birala bibazimba? Nze Muzaata ndi ‘sober' (ntegeera bulungi) era ebyo nabiggaddewo. Abo ababimbuuza mubang'ambire nti, ‘bw'oba ng'okuba Muzaata, osooka kulowooza ku bantu b'azze agonza.

Olaba Tinyefunza, Jenero omulamba ng'alina n'emmundu yaggya n'atwetondera era okukkakkana nga nnyina amusenguddewo okumpi n'omuzikiti gwaffe guno e Kyengera, olwo ate abo?" Muzaata bwe yabuuzizza. Muzaata yalumba Kenzo nti abadde agalabanja Rema ng'awoza "nkyetegereza".

N'amugeraageranya ku bavubuka Rema be yayimba ng'abayita "ba love nigger", ba ssemyekozo abatawasa. Abamalira abakazi obudde nga banoonya kuwasa abafaanana bamaama baabwe. Yakomekkereza alagidde agende awase nnyi kyokka nga maama wa Kenzo yafa dda emyaka 20 emabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...