TOP

Jjajja Nabamba Bujagali afiiridde ku myaka 114

Added 28th October 2019

ABANTU b’e Busoga bali mu kiyongobero oluvannyuma lwa Jjajja Nabamba Bujagali, abadde Omuswezi omuggundiivu mu byobuwangwa bwa Busoga, ebyafaayo ng’ate abadde yafuuka kyabulambuzi, okufa.

 Abamu ku basawo b’ekinnansi ab’e Busoga abakungubagidde Bujagali.

Abamu ku basawo b’ekinnansi ab’e Busoga abakungubagidde Bujagali.

BYA TOM GWEBAYANGA

Bujagali yafiiridde ku myaka 114 era abadde yalwala obulwadde bw'okusannyalala n'obwomumusaayi. Yafiiridde mu maka ge okumpi n'ebbibiro ly'amasannyalaze ery'e Bujagali.

Okusinziira ku ssentebe w'ekibiina kya New Uganda n'eddagala Lyayo Integrated Traditional Healers'Association (NUNLITHA) e Busoga, Omuswezi Siraji Isabirye Kinagoidhi, Bujagali yafudde mu kiro ekyakeesezza Ssande.

Kinagoidhi yategeezezza Bukedde nti olunaku olw'okuziika Bujagali terunnamanyika wabula enteekateeka zigenda mu maaso.

Jajja Bujagali abadde ajjanjabibwa mu ddwaaliro lya Nile International Hospital mu kibuga e Jinja wabula olw'essente ennyingi, abantu be baawawalizibwa okumusabayo ne bamuzza awaka gye yafiiridde.

Ye Omulangira Kitiimbo yagambye nti bw'ogeraageranya Bujagali mu by'eddiini, abadde ku ddaala lya "Bishop" kuba y'abadde akulira Abasamize Abaswezi (abatalya byannyanja) mu Busoga yonna.

"Okumuziika tekupapirwa, era kubeera mu mitendera. Ono wa buliri obusoba mu butaano era ng'emisoso tegiweddeeyo taziikiibwa," Kitimbo bw'agambye.

Mu baamukungubagidde kuliko munna FDC Salaamu Musumba.

"Ng'oggyeeko okuba omunene mu Baswezi, abadde n'ekirevu ekyeru ng'omuzira, nga era abalambuzi baagala okulaba ku muntu awangadde nga enfudu z'e Mmengo," Salaamu bwe yagambye.

ABASWEZI BAMUKUNGUBAGGIDDE

Akulira Abaswezi e Bugabula (Kamuli, Buyende), Mandwa Kagulu Nabiryo, yagambye nti bafiiriddwa omukulembeze omulungi ng'ate abadde abawabula ku nsonga ez'obuwangwa.

Ate Isabalangira w'e Kamuli, Omulangira Henry Mitala Woira, yategeezezza nti Bujagali anajjukirwanga olw'okuwagira enkulaakulana y'e Busoga, bwe yakkiriza okuwaayo ettundutundu ly'ettaka lye okwazimbibwa ebbibiro ly'amasannyalaze.

EBITTAJJA KWERABIRWA KU BUJAGALI

Ajjukirwa okukaayanira ebiyiriro by'e Bujagali, gavumenti bwe yali etegeka okuzimbawo ebbibiro ly'amasannyalaze bwe yatiisatiisa nti emisambwa gigaanyi okwonoona we gyegazaanyiza.

Abakozi b'ekitongole ky'ebyamasanyalaze bwe bajja okumubuuza ani nnannyini biyiriro nga baagala okumuliyirira, mu kifo ky'okuddamu nti bibye, yabagamba nti bya misambwa, bwatyo n'afiirwa obuwumbi bw'essente era agenze okufa nga mwavu.

Olwokuba yabiyita bya misambwa, gavumenti yamubuuza oba kisoboka okugisengula era bwe yakkiriza, kwe kugitwala e Namizi mu ggombolola y ‘e Budondo gye yazimba amasabo amapya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...