TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abakyala n'abavubuka mwettanire emisomo gy'ebyemikono'

'Abakyala n'abavubuka mwettanire emisomo gy'ebyemikono'

Added 28th October 2019

Byaruhanga yagambye nti gavumenti nneetegefu okuyamba abakyala n’abavubuka ng’eyita mu kubakwasizaako mu mirimu gyabwe era n’asaba ab’e Najjankumbi okweyambisa omukisa guno okuyiga emirimu gino.

 Byaruhanga ng'alambula ebimu ku bintu ebikolebwa ekibiina kya  Najjanankumbi II Mordern Women Development Group. Ku ddyo ye Najjemba.

Byaruhanga ng'alambula ebimu ku bintu ebikolebwa ekibiina kya Najjanankumbi II Mordern Women Development Group. Ku ddyo ye Najjemba.

ABAKYALA n'abavubuka bakubiriziddwa okwettanira emisomo gy'ebyemikono kibayambe okwekulaakulanya n'okwetandikirawo emirimu.

Okusaba kuno kwakoleddwa omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga z'ebyobufuzi, Moses Byaruhanga bwe yabadde atongoza ekibiina kya 'Najjanankumbi II Mordern Women Group' ekisomesa abakyala n'abavubuka emirimu gy'ebyemikono  ekisangibwa e Najjanankumbi.

Byaruhanga yagambye nti gavumenti nneetegefu okuyamba abakyala n'abavubuka ng'eyita mu kubakwasizaako mu mirimu gyabwe era n'asaba ab'e Najjankumbi okweyambisa omukisa guno okuyiga emirimu gino.

Mmeeya wa Lubaga, Nabbosa Ssebuggwawo yakubirizza abazadde okwagazisa abaana baabwe emisomo gy'ebyemikono kibayambe okwetandikirawo emirimu n'okweyimirizaawo.

Yabasabye okwettanira ebibiina n'okwegatta basobole okubakwatizaako okutumbula emirimu gyabwe.

Esther Najjemba omutandisi w'ekibiina kino era ssentebe w'abakyala ba NRM mu Lubaga yategeezezza nti ekigendererwa ky'ekibiina kino kuyamba bawala abaavu mu masomero nga tebamazeeko ssaako abakyala n'abavubuka abatalina mirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.