TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nja kufufuggaza abagagga abeefunyiridde okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala - RCC Mpiima

Nja kufufuggaza abagagga abeefunyiridde okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala - RCC Mpiima

Added 28th October 2019

RCC Mayanja yakakasizza nga bw'atagenda kuganya mugagga yenna kubba ttaka lya ssomero lyonna erya Gavumenti mu Kampala n'awera nti ensonga ne bwe ziba zeetaaga kutwala wa Pulezidenti yennyini, ajja kutuuka.

 RCC Mayanja Mpiima (asibye akakaaya) n'abamu ku basomesa n'abaddukanya essomero lya Nakivubo Blue P/S. Mu kakakooti aka bbululu ye Anges Mugisha alikulira

RCC Mayanja Mpiima (asibye akakaaya) n'abamu ku basomesa n'abaddukanya essomero lya Nakivubo Blue P/S. Mu kakakooti aka bbululu ye Anges Mugisha alikulira

JAMES MAGALA

OMUBAKA wa Pulezidenti mu Kampala, Faridah Mayanja Mpiima, aweze nga bw'agenda okufufuggaza  abagagga bonna abeesomye okubba ettaka ly'amasomero ga Gavumenti mu Kampala nga bakozesa olukujjukujju.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Nakivubo Blue Primary School mu Kampala abayizi bwe baabadde bayolesa ebitone byabwe era nga wano abaddukanya essomero lino baamutegeezezza nga bwe waliwo abagagga abeesomye okubba ettaka ly'essomero wadde ng'ekyapa weekiri.

Wano RCC Mayanja, we yasinzidde n'abakakasa nga bw'atagenda kuganya mugagga yenna kubba ttaka lya ssomero lyonna erya Gavumenti mu Kampala n'awera nti ensonga ne bwe ziba zeetaaga kutwala wa Pulezidenti yennyini, ajja kutuuka.

Yagumizza abasomesa mu Kampala ku mbeera mwe bakolera emirimu omuli ebisulo ebitali birungi n'ategeeza nti Gavumenti ensonga zonna ezikolako nga waakubeerawo ekikolebwa okubasobozesa okuweereza obulungi eggwanga.

Wabula era ono yalabudde abazadde okukoma okuvumirira amasomera ga Gavumenti nga bwe gatasomesa n'ategeeza nti omuntu asobola okufuuka ow'amaanyi ng'ayise mu masomera ago.

Ye akulira essomero lya Nakivubo Blue, Agnes Mugisha yasabye Gavumenti okwongera okubakwasizaako ng'ebazimbira ebizimbe eby'omulembe n'ategeeza nti omuwendo gw'abayizi be balina munene nnyo ku bizimbe bye balina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...