TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasumba baagala Paapa akkirize abafumbo okukulembera mu mmisa

Abasumba baagala Paapa akkirize abafumbo okukulembera mu mmisa

Added 28th October 2019

Ekimu ku bintu ebyabadde ebyebbugumu mu kukubaganyizibwako ebirowoozo kye ky’okukirizaa abafumbo okuyingira obufaaza batandike okukulembera mmisa naddala bifo etabeera kusaba olw’obutabaayo bafaaza.

 Paapa Francis

Paapa Francis

Bya Musasi Waffe

ABASUMBA ba Klezia abali mu lutuula olw'enjawulo e Vatican basabye Paapa Francis alowooze ku ky'okukiriza abasajja abafumbo okuyingira obusosodooti naddala mu bitundu by'amaserengeta ga  Amerika etali bawereza ba Eklezia bamala.

           Abasumba era basabye Paapa ayongere abakazi ebifo eby'obuwereza mu Klezia. Bino bye bimu ku byatuukiddwaako olukiiko lw'Abasumba olw'enjawulo olukwata ku bitundu by'omu maserengeta ga Amerika olumaze ennaku esatu.

            Abasumba baagambye nti ekitundu kya Amerika ekyo kirina ebizibu bingi omuli okunyunyuunta  abantu abazaaliranwa, okwonoona obutonde bw'ensi n'ebbula ly'Abasosolodooti.Paapa yagambye nti ajja kutunula mu nsonga zino ng'omwaka tegunagwaako.

         Kyokka okusaba kw'Abasumba naddala ku by'okukiriza abafumbo okuyingira obusolodooti mu Klezia kiyinza okuvaako obuzibu mu Klezia mu nsi yonna kuba kino tekikirizibwa.

Olukung'ana luno lwabaddemu Abasumba 184 okuva mu kitundu ekimanyiddwa nga Amazon mu Amerika era lwetabiddwaamu Abassita n'abakikiridde abantu abazaalranwa mu .

Ekimu ku bintu ebyabadde ebyebbugumu mu kukubaganyizibwako ebirowoozo kye ky'okukirizaa abafumbo okuyingira obufaaza batandike okukulembera mmisa naddala bifo etabeera kusaba olw'obutabaayo bafaaza.

Abasumba baagambye nti engeri Klezia gye yakiriza Abawule b'Ekkanisa abaali abafumbo ne bakyuka ne badda mu Klezia okubeera ne bakazi baawe, Paapa asanye addiremu abafumbo abalina empisa okuyingira obufaaza bawereze abantu ba Katonda. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....