TOP

Bujagaali alese ekiraamo ekikakali

Added 29th October 2019

MU bulamu abadde teyeemoolerwako, ne mu kufa alese ekiraamo ekikakali okuziyiza abakungubazi okumuleetako essagaliko.

Abantu nga bakumye olumbe mu maka ga Bujagali e Jinja.

Abantu nga bakumye olumbe mu maka ga Bujagali e Jinja.

Bya TOM GWEBAYANGA NE CHARLES OKALEBO

Oyo ye jjajja Nabamba Bujagali eyalese ekiraamo ekikugira abakungubazi okumutemera emiranga nga bwe baaziirana n'ategeeza mu kiraamo nti emagombe gy'aliba kye yeetaaga okuwulira ze ηηoma, emirere, amazina n'ennyimba ez'Ekiswezi.

Okumanya Bujagali tawena, Abaswezi mu kutuukiriza obulombolombo bwonna obumukwatako baanoze eddagala ery'oku ttale lye baasiize omulambo mu kifo ky'okugukuba empiso nga bagamba nti lino lijja kukuuma omubiri gwe nga teguvunze yadde okuvaamu akasu.

Omuntu yenna eyalidde ku mbizzi oba okunyumya akaboozi k'ekikulu teyeetantala kutunula ku mulambo okusinziira ku bulombolombo bw'Abaswezi.

Ebiragiro bino, Katukiro wa Bujagali, Waiswa Muyiri y'abitegezezza Bukedde, n'alabula nti ssinga ensobi eneekolebwa kisobola okuvaako nnamuttikwa w'enkuba okufukumuka ne laddu.

Bujagali kigam- bibwa nti yafi iridde ku myaka 114, era mu kiraamo kye yalese yalaamira Hajati Kulannama ow'e Kampala okukuuma famire ye.

Kulanama ng'oggyeeko eky'okuba nti abadde mwana wa Bujagali mu by'empewo era abadde mukwano gwe nfanfe.

Bujagali yafudde ku Lwomukaaga akawungeezi, era abantu ba bulijjo, bannabyabufuzi, abagagga n'Abazungu beeyiye ewuwe okukungubaga.

Abadde yatwalibwako mu ddwaaliro lya Nile International Hospital mu kibuga Jinja, kyokka n'atatereera n'azzibwa mu lubiri lwe ku Bujagali, oluliraanye ebbibiro ly'amasannyalaze eppya erya Bujagali Hydro Power.

 kulira bakabona umba ligaweesa ne senga ulanama nga boogera eri bannamawulire mu maka gomugenzi ujagali e inja ku mande Akulira bakabona Jumba Aligaweesa ne Ssenga Kulanama nga boogera eri bannamawulire mu maka g'omugenzi Bujagali e Jinja ku Mmande.

OKUKUNGUBAGA KWAKUMALA ENNAKU 7

Mu kiraamo kye, Bujagali yalaamira Omuganga Jumba Lubowa Aligawesa okuva e Buganda nti y'alisabira omulambo gwe, oluvannyuma lwa wiiki nnamba nga bakungubaga.

Katukiro Muyiri agambye nti omulambo gwakuziikibwa mu emu ku nnyumba ze kyokka n'agaana okugisongako, nti ekyo kyama ky'Abaswezi. Mu bulombolombo bw'Abaswezi, bwe bamala okuziika , ng'ennyumba bagikoona okutuusa yonna lw'eggweera ku ttaka.

Emyaka bwe gigenda gyetoolola enkuba etwala ebifunfugu by'enju olwo amalaalo ne galyoka galabika.

Ssentebe wa New Uganda n'Eddagala Lyayo Traditional Healers Association (NULITHA) Siraje Isabirye Kinagoidhi, atageezezza nti Bujagali abaddeko emizimu n'emisambwa egitabalika, nga gyamulonda okuva mu disitulikiti y'e Luuka eyo mu 1960 ne gimukunguzza okumuleeta ku biyiriro by'e Bujagali, w'abadde okutuusa lw'afudde.

Katukiro Muyiri ategeezezza nti kati mu budde buno ng'ali mu ddiiro, Abaswezi babiri bokka be bateekeddwa okukwata ku mulambo gwe, era be bavunaanyizibwa okumuziika n'abalala batono ddala.

Muyiri ategeezezza nti mu kufulumya omulambo, bamutambulizaako embuzi n'enkoko, ebita by'omwenge n'ebiveera bya taaba ow'emmindi zaabwe.

 ligaweesa ku ddyo ngasaasira abalongo wa ujagali awabutwa ujagali owookubiri ku kkono e inja ku mande Aligaweesa (ku ddyo) ng'asaasira Nabalongo wa Bujagali, Kawabutwa Bujagali (owookubiri ku kkono) e Jinja ku Mmande.

ABASWEZI BAAGALA MUSEVENI AJJE AKUNGUBAGE

Ssaalongo Kinagoidhi ategeezezza nti nga bayita mu Hajati Kulanama, baayise Pulezidenti Museveni ajje akungubagire "mukwano" gwe, nti baateranga okusisinkana mu kafubo naddala nga gavumenti etegeka okuzimba ebbibiro ly'amasannyalaze e Bujagali.

AMABUGO

Abalina amabugo bagateeka mu kabbo akaateekeddwa awalabika, kyokka nga kutunuulirwa n'eriiso ejjogi sikulwa nga mu bakungubazi mujjiramu ne bakyalakimpadde.

Ku Lwokutaano, abantu lwe bajja okukkirizibwa okumukubako eriiso evvannyuma naye okuggyako okulaba embugo, kizira okumutunula mu maaso naddala nga weegasse mu bikolwa eby'ekikulu, okulya engege oba ennyama y‘embizzi.

MU bulamu abadde teyeemoolerwako,

ne mu kufa alese ekiraamo ekikakali

okuziyiza abakungubazi okumuleetako

essagaliko.

Oyo ye jjajja Nabamba Bujagali

eyalese ekiraamo ekikugira abakungubazi

okumutemera emiranga nga

bwe baaziirana n'ategeeza mu kiraamo

nti emagombe gy'aliba kye yeetaaga

okuwulira ze ηηoma, emirere, amazina

n'ennyimba ez'Ekiswezi.

Okumanya Bujagali tawena, Abaswezi

mu kutuukiriza obulombolombo bwonna

obumukwatako baanoze eddagala

ery'oku ttale lye baasiize omulambo mu

kifo ky'okugukuba empiso nga bagamba

nti lino lijja kukuuma omubiri gwe

nga teguvunze yadde okuvaamu akasu.

Omuntu yenna eyalidde ku mbizzi oba

okunyumya akaboozi k'ekikulu teyeetantala

kutunula ku mulambo okusinziira

ku bulombolombo bw'Abaswezi.

Ebiragiro bino, Katukiro wa Bujagali,

Waiswa Muyiri y'abitegezezza Bukedde,

n'alabula nti ssinga ensobi eneekolebwa

kisobola okuvaako nnamuttikwa

w'enkuba okufukumuka ne laddu.

Bujagali kigam- bibwa nti

yafi iridde ku

myaka 114,

era mu kiraamo

kye

yalese

yalaamira

Hajati Kulannama ow'e Kampala

okukuuma famire ye. Kulanama

ng'oggyeeko eky'okuba nti abadde

mwana wa Bujagali mu by'empewo era

abadde mukwano gwe nfanfe.

Bujagali yafudde ku Lwomukaaga

akawungeezi, era abantu ba bulijjo,

bannabyabufuzi, abagagga n'Abazungu

beeyiye ewuwe okukungubaga. Abadde

yatwalibwako mu ddwaaliro lya Nile

International Hospital mu kibuga Jinja,

kyokka n'atatereera n'azzibwa mu lubiri

lwe ku Bujagali, oluliraanye ebbibiro

ly'amasannyalaze eppya erya Bujagali

Hydro Power.

OKUKUNGUBAGA

KWAKUMALA ENNAKU 7

Mu kiraamo kye, Bujagali yalaamira

Omuganga Jumba Lubowa Aligawesa

okuva e Buganda nti y'alisabira omulambo

gwe, oluvannyuma lwa wiiki

nnamba nga bakungubaga.

Katukiro Muyiri agambye nti omulambo

gwakuziikibwa mu emu ku nnyumba

ze kyokka n'agaana okugisongako, nti

ekyo kyama ky'Abaswezi.

Mu bulombolombo bw'Abaswezi,

bwe bamala okuziika , ng'ennyumba

bagikoona okutuusa yonna lw'eggweera

ku ttaka. Emyaka bwe gigenda gyetoolola

enkuba etwala ebifunfugu by'enju

olwo amalaalo ne galyoka galabika.

Ssentebe wa New Uganda n'Eddagala

Lyayo Traditional Healers Association

(NULITHA) Siraje Isabirye Kinagoidhi,

atageezezza nti Bujagali abaddeko

emizimu n'emisambwa egitabalika, nga

gyamulonda okuva mu disitulikiti y'e

Luuka eyo mu 1960 ne gimukunguzza

okumuleeta ku biyiriro by'e Bujagali,

w'abadde okutuusa lw'afudde.

Katukiro Muyiri ategeezezza nti

kati mu budde buno ng'ali mu

ddiiro, Abaswezi babiri bokka be

bateekeddwa okukwata ku mulambo

gwe, era be bavunaanyizibwa

okumuziika n'abalala

batono ddala.

Muyiri ategeezezza nti

mu kufulumya omulambo,

bamutambulizaako embuzi

n'enkoko, ebita

by'omwenge n'ebiveera

bya taaba ow'emmindi

zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Muzaata

Sheikh Nuhu Muzaata otusadd...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga November 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata.

Kitalo: Sheikh Nuhu Muzaata...

Sheikh Nuhu Muzaata afudde ku Lwokutaano nga December 4, 2020. "Innalilahi wainailayhi Rajoun? Sheikh Nuhu...

Sheikh Muzaata

Kitalo Sheikh Muzaata afudde

 KITALO SHEIKH MUZAATA AFUDDE Kitalo! Sheikh Nuhu Muzaata Bbate afudde!. Ono abadde mu ddwaaliro ya International...

Harriet Nakwedde eyagenze okulambula ku Bukirwa mu ddwaaliro.

Maama eyakubwa ttiyaggaasi ...

MAAMA w'abaana Justine Bukirwa 45, eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi mu mbugo ne kamwabikiramu, avundira mu kalwaliro...

Basajja ba Bobi be baakubyemu ttiyaggaasi nga babuna emiwabo.

Nobert Aliho musajja wa Bob...

Abawagizi ba Bobi Wine ababadde batambulira ku kabangali bakiguddeko poliisi bwebakubyemu obukebe bwa ttiyaggaasi...