TOP

Abaasuze mu mukwano tebalinnya ewa Bujagaali

Added 29th October 2019

Eyasuze ng’ali mu kikolwa ky’omukwano obutasembera, eyalidde embizzi oba ebyennyanja obutalinya mu kifo awali omulambo.

 Bujagali

Bujagali

ABAAGALA okugenda okukuba eriiso evvannyuma ku jjajja Nabamba Bujagali babawadde obukwakkulizo obukambwe.
 
Eyasuze ng'ali mu kikolwa ky'omukwano obutasembera, eyalidde embizzi oba ebyennyanja obutalinya mu kifo awali omulambo.
 
Obwakyabazinga butaddewo akakiiko akategeka okuziika Bujagaali nga kakulirwa minisita w'ebyobuwngwa n'ennonno Richard John Mafumo.
 
Eggulo Mafumo yatuuzizza olukiiko n'abakuuma omulambo (Abaswezi), okulaba engeri okuziika jjajja w'ebyobuwangwa abadde asingamu obuwangaazi gy'anaazikibwa.
 
Olukiiko lwabaddemu: Siraje Isabirye Kinagoidhi, ssentebe wa New Uganda n'Eddagala Lyayo Traditional Integrated Healers Association (NUNLITHA), ssentebe wa Obumu Traditional Healers Obumu Traditional and Herbalists Association , Hajati Kulannama ne Jjumba Lubowa Aligawesa, omusamize eyavvudde e Buganda.
 
Mu kafubo kano, Mafumo yagambye nti kikakata  ku Bwakyabazinga okulaba nga Jajja Bujagali eyafiiridde ku myaka 114  azikibwa mu bitiibwa eby'Ekiswezi ebijjuvu, kuba okuviira ddala mu 1960, y'abadde akutte omumuli  ogw'obuwangwa bwa Busoga, okuli n'okukuuma erinnya n'amaanyi ag'emisambwa gy'e Bujagali.
 
Mafumo yannyonnyodde nti ne mu mirembe egy'edda  egy'aba Bujagali abaasooka, b'akuuma erinnya lya Bujagali okutuusa kw'ono ow'omwenda, ow'omulembe guno ogumanyiddwa ng'omugujufu oguze n'enkulaakulana n'okukyusa ebifo by'obuwangwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...