TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni awadde ekiragiro ku Magye agali e Makerere

Pulezidenti Museveni awadde ekiragiro ku Magye agali e Makerere

Added 30th October 2019

Pulezidenti Museveni awadde ekiragiro ku Magye agali e Makerere

 Abaserikale ba miritale be baateeka e Makerere okukkakkanya abeekalakaasi.

Abaserikale ba miritale be baateeka e Makerere okukkakkanya abeekalakaasi.

PULEZIDENTI Museveni alagidde amagye okwamuka yunivasite y'e Makerere bunnambiro kuba talaba nsonga yagatwazaayo. Yasinzidde mu lukiiko lw'akabondo k'ababaka ba NRM olwatudde eggulo ku ofiisi ya Katikkiro ne yeewuunya ekyatwaza abaserikale ba miritale e Makerere.

Pulezidenti yagambye nti okukkakkanya abayizi buvunaanyizibwa bwa poliisi so si magye, n'asuubiza okulondoola eyawa ekiragiro kino nga bwe yeebuuza nti, "Kati Miritale ani yagiragira okuyingira mu ttendekero eryo?" Okuva abayizi b'e Makerere lwe baatandika okwekalakaasa ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde nga bawakanya okulinnyisa ebisale ebitundu 15, amagye gabadde galabibwa nga gabagumbulula.

Yakikkaatirizza nti ensonga z'e Makerere zigwaana kukolwako bakulembeze ba Yunivasite eyo n'abakulembeze b'abayizi. Yavumiridde eky'abayizi okwekalakaasa n'agamba nti, balina kweyambisa makubo ga kuteesa okusobola okugonjoola obutakkaanya buno.

Minisita omubeezi ow'ensonga z'omunda mu ggwanga, Marion Obiga Kania yategeezezza nti, bataddewo akakiiko kanoonyereze ku biriwo mu Yunivasite muno n'asuubiza nti eky'okuggyayo amagye kyakukolebwa mu bwangu.

Pulezidenti era yasisinkanye akulira olukiiko olufuzi olwa yunivasite, Lorna Magara n'akulira abayizi, Julius Kateregga n'abalagira okukwatagana bagonjoole okusika omuguwa okuliwo mu kiseera kino.

Kateregga yagambye nti ensonga y'obutabinika bayizi ssente kwe bakyanyweredde era tebagenda kukivaako kuba bannaabwe bangi abawanduse olw'ebisale ebiri waggulu. Olukiiko olwabadde lutegekeddwa ku Lwokubiri nga lulimu abaddukanya yunivasite abaakulembeddwa akola ng'omumyuka wa Cansala, Polof. Umar Kakumba n'abakulembeze b'abayizi lwagudde butaka.

Embeera yatandikidde ku bayizi abaabadde baleekaanira waggulu nga bwe bagamba nti teri kwongeza bisale. Poliisi yakozesezza ekifuba n'efulumya abayizi era olukiiko ne lutabeerawo. Bannamawulire eggulo baayongedde okuloza ku bukambwe bwa poliisi bwe yabakubye emiggo n'omukka ogubalagala n'ensambaggere ng'ebalanga okukwata amawulire mu yunivasite.

Abamu ku baamawulire abaayisiddwa obubi kwabaddeko; Lawrence Kitatta owa Bukedde, Chris Semakula owa BBS, ne Allan Kasujja owa BBC. Polof. Kakumba yayongedde okukikkaatiriza nti tebajja kusazaamu kya kwongeza bisale kuba kino kyasalibwawo oluvannyuma lw'okutuula n'olukiiko olufuga abayizi omwaka oguwedde ne bakkaanya okwongeza ebitundu 15 ku buli 100.

Ekyakoleddwa abayizi yagambye nti kikumwamu omuliro abayizi nga beetegekera okulonda kw'abayizi okunaatera okubaawo ng'abamu baagala kulabika ng'abazira basobole okufuna obululu.

Yawolerezza n'ebisale nga bwe biri wansi bwogeraageranya ne yunivasite endala. Okugeza e Makerere omuyizi asoma amawulire asasula 2,500,000/- ate nga bannaabwe aba UCU e Mukono basasula 4,100,000/-.

Ku yunivasite ye Nairobi omuyizi asoma obusawo asasula 17,371,500/- kyokka asoma koosi yeemu e Makerere asasula 2,688,000/- ate e Rwanda asasula 8,000,000/-. Ebyokwerinda eggulo we bwazibidde nga byamaanyi nnyo ku bisulo by'abayizi naddala ekya Lumumba, Mary Stuart, Mitchell Hall ne Nsibirwa.

Buli muntu ayingira yunivasite ng'ali ku bigere alina okukeberebwa ennyo n'okulaga densite nga bwebeera nga si ya yunivasite oba olina okunnyonnyola ennyo okumatiza abasirikale okuyitawo. Mu ngeri y'emu Palamenti ya Uganda eddamu leero okutuula oluvannyuma lw'omwezi mulamba ng'ewumudde.

Ezimu ku nsonga ezisuubirwa okusooka okuteesebwako mulimu ensonga ya yunivasite y'e Makerere abayizi gye bawezezza wiiki nga beekalakaasa nga bawakanya eky'okwongeza ebisale.

Basuubirwa okwogera ne ku ttemu erisusse mu ggwanga era Sipiika Rebecca Kadaga y'asuubirwa okukubiriza olukiiko kawungeezi ka leero. Palamenti era esuubirwa okufuna lipooti ku nongoosereza mu mateeka g'ebyokulonda okuva mu kakiiko akakola ku nsonga z'amateeka akukubirizibwa Jacob Oboth Oboth (West Budama South

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...

Ekiggwa ky'Abajulizi e Namu...

Engeri Ekiggwa ky'Abajulizi e Namugongo gye kifaanana. Eno gye battira Abajulizi era ekifo kino kyafuuka kya bulambuzi...

Abamu ku beetabye mu lukiiko.

Alina poloti etaweza 50 ku ...

Minisitule y’eby’ettaka n’okuteekerateekera ebibuga bafulumizza enteekateeka empya ey’okuzimba mu bibuga. Bategeezezza...