TOP

Abaasuze mu mukwano tebalinnya ewa Bujagali

Added 30th October 2019

Obukwakkulizo kuliko;yasuze ng’ali mu kikolwa ky’omukwano obutasembera, eyalidde embizzi oba ebyennyanja obutalinya mu kifo awali omulambo.

Omugenzi Bujagali nga bwabadde afaanana.

Omugenzi Bujagali nga bwabadde afaanana.

Bya TOM GWEBAYANGA
 
ABAAGALA okugenda okukuba eriiso evvannyuma ku jjajja Nabamba Bujagali babawadde obukwakkulizo obukambwe.
 
Eyasuze ng'ali mu kikolwa ky'omukwano obutasembera, eyalidde embizzi oba ebyennyanja obutalinya mu kifo awali omulambo.
 
Obwakyabazinga butaddewo akakiiko akategeka okuziika Bujagaali nga kakulirwa
minisita w'ebyobuwngwa n'ennonno Richard John Mafumo.
 
Eggulo Mafumo yatuuzizza olukiiko n'abakuuma omulambo (Abaswezi), okulaba engeri okuziika jjajja w'ebyobuwangwa abadde asingamu obuwangaazi gy'anaazikibwa.
 
Olukiiko lwabaddemu: Siraje Isabirye Kinagoidhi, ssentebe wa New Uganda
n'Eddagala Lyayo Traditional Integrated Healers Association (NUNLITHA), ssentebe
wa Obumu Traditional Healers Obumu Traditional and Herbalists Association,
Hajati Kulannama ne Jjumba Lubowa Aligawesa, omusamize eyavvudde e Buganda.
 
Mu kafubo kano, Mafumo yagambye nti kikakata ku Bwakyabazinga okulaba nga Jajja Bujagali eyafiiridde ku myaka 114 azikibwa mu bitiibwa eby'Ekiswezi ebijjuvu, kuba okuviira ddala mu 1960, y'abadde akutte omumuli ogw'obuwangwa bwa Busoga, okuli n'okukuuma erinnya n'amaanyi ag'emisambwa gy'e Bujagali.
 
Mafumo yannyonnyodde nti ne mu mirembe egy'edda egy'aba Bujagali abaasooka, b'akuuma erinnya lya Bujagali okutuusa kw'ono ow'omwenda, ow'omulembe guno ogumanyiddwa ng'omugujufu oguze n'enkulaakulana n'okukyusa ebifo by'obuwangwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti  wa DP Nobert Mao ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala.

Ebizibu mu DP byeyongedde: ...

EBIZIBU byeyongedde mu DP, ekisanja kya Nobert Mao bwe kiweddeko wakati mu kuwakanyizibwa abamu ku bammemba okuli...

Erias Lukwago kisuubirwa ayinza okukwatira FDC enkasi singa Besigye tggyaayo mpapula kwewandiisa kuvuganya

Abaagala bendera ya FDC ku ...

ABA FDC bataddewo olwaleero n’enkya ku Lwokubiri nga nsalessale eri abaagala okukwatira ekibiina bendera ku kifo...

Brig. Flavia Byekwaso nga bamwambaza ennyota mu February 2019 e Mbuya.

By'obadde tomanyi ku Brig. ...

Okulondebwa kwa Brig. Byekwaso kumufudde omu ku bakazi abasinga amaanyi mu UPDF. Y’omu ku babaka 10 abakiikirira...

Enkyukakyuka mu UPDF kye zi...

Enkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti Museveni mu magye zirimu ebikulu ebitabuusibwa maaso. Alonze omukazi asoose...

Hon.Nakiwala ng'annyonnyola

Minisita Nakiwala Kiyingi a...

Minisita omubeezi ow'abavubuka n'abaana mu ggwanga Florence Nakiwala Kiyingi asabye abavubuka bulijjo okwekolamu...