TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba West Buganda banoonya kawumbi okuzimba e Masaka

Aba West Buganda banoonya kawumbi okuzimba e Masaka

Added 30th October 2019

Ng’ayigiriza, Rev Elisa Mayanja ow’e Kasubi mu Bulabirizi bw’e Namirembe yakuutidde abakkiriza okwewala okwessaako obuvunaanyizibwa bwonna n’agamba nti bwe bajja okwanguyirwa okuggusa pulojekiti ya Church Plaza n’endala zonna. Yabasabye okweggyamu obukodo kubanga Katonda abawa byonna abassa akasiiso nga bawaayo obusammambiro nti naye gye bakoma okuweesaayo n’omutima gumu gy’akoma n’okubajjulizaawo omusera.

 Omugagga Katongole ( ku ddyo), Omulabirizi Katumba n'omukyala mu kusonda ssente.

Omugagga Katongole ( ku ddyo), Omulabirizi Katumba n'omukyala mu kusonda ssente.

OBUKADDE 100 bwe bwasondeddwa mu buliwo ne mu bisuubizo okumaliriza ekizimbe ky'ebyobusuubuzi eky'Obulabirizi bwa West Buganda ng'omulimu gwakumalawo akawumbi kamu n'obukadde 800.
 
Omukolo gw'okusonda ssente gwakoleddwa mu makkati g'ekibuga Masaka mu maaso gw'ekizimbe kino ekya Church Plaza nga gwategekeddwa Omulabirizi  Henry Katumba Tamale n'alukiiko lwe.
 
Ng'ayigiriza, Rev Elisa Mayanja ow'e Kasubi mu Bulabirizi bw'e Namirembe yakuutidde abakkiriza okwewala okwessaako obuvunaanyizibwa bwonna n'agamba nti bwe bajja okwanguyirwa okuggusa pulojekiti ya Church Plaza n'endala zonna.
 
Yabasabye okweggyamu obukodo kubanga  Katonda abawa byonna abassa akasiiso nga bawaayo obusammambiro nti naye gye bakoma okuweesaayo n'omutima gumu gy'akoma n'okubajjulizaawo omusera.
 
Eyabadde omugenyi omukulu Emmanuel Katongole yagambye nti  Obulabirizi bwa West Buganda Katonda abwagadde nga mu myaka 60, bazaaliddemu n'Obulabirizi obulala okuli; Central Buganda ne Mityana obubaddemu Ssaabalabirizi Dr. Steven Kazimba.
 
Katongole yatunze ekifaananyi kya Ssaabalabirizi Kazimba ku bukadde 10, nga ku lulwe yawaddeyo obukadde 23 n'abasuubiza nga  bw'ajja n'okubasakira obuyambi okuva mu mikwano gye.
 
Yawabudde Bannamasaka okwongera okuzimba ebizimbe eby'amaanyi mu kibuga nti kuba bwe bitabaamu n'ekibuga tekinyuma. 
 
Mmeeya Godfrey Kayemba Afaayo n'omubaka omukazi owa Masaka Mary Babirye Kabanda buli omu yawaddeyo obukadde bubiri ne basiima  Obulabirizi bwa West Buganda n'abantu abalala abaagala Masaka okufuuka ekibuga. 
 
Dr. Ddamulira n'omukyala aba St. Mark Namagoma baawaddeyo obukadde10 ate eyali omubaka Kasse Mubanda n'awaayo akakadde kamu n'emitwalo kkumi nga n'Omulabirizi eyawummula Dr. Kamya Ssemakula yaguze ekifananyi ky'Omusumba w'essaza lye Masaka, Severus Jjumba akakadde kamu n'ekitundu.
 
Bp. Tamale yeebazizza abaawaddeyo n'asaba Abakristaayo okweggyamu enkola y'okutambuza pulojekiti z'ekkanisa akasoobo.
 
N'agamba nti baagala ekizimbe kino kiggulwewo mu June  wa 2020 ng'Obulabirizi bujaguza emyaka 60 bukya butandikibwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...