TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Katumba Wamala alabudde bakanyama ku ffujjo

Gen. Katumba Wamala alabudde bakanyama ku ffujjo

Added 30th October 2019

Minisita omubeezi ow’ebyengudo Gen. Katumba Wamala eyabade omugenyi omukulu yategeezezza nga bakanyama bwe babade babamanyidde mu kukola effujjo n’okwetaba mu ntalo. N’agamba nti engeri gye basazeewo okwegatta bagenda kubatendeka mu byokwerinda kibayambe okukuuma abantu nga tebakozesa mmundu. Yabasabye okutandikawo ekibiina kya SACCO nga gavumenti mw’ejja okuyita okubakulaakulanya

 Gen. Katumba Wamala ng'abuuza omu ku bakanyama e Kabuusu

Gen. Katumba Wamala ng'abuuza omu ku bakanyama e Kabuusu

BAKANYAMA beemulumugunyizza ku bitongole ebikuumaddembe ebibakozesa okukuuma ekiro n'okukola ebikwekweto okufuuza abamenyi b'amateeka kyokka ne babeefuulira ne babayita abamenyi b'amateeka. 
 
Okwemulugunya kuno baakukolede ku mukolo ku wooteeri ya Tarven Woods e Kabuusu nga batongoza ekibiina ekibagatta ekya Bouncers Association Uganda
Umar Bulega omu ku batandisi b'ekibiina kino yategeezezza nti babayisaamu amaaso nga poliisi ebayita bamenyi b'amateeka mu budde bw'emisana  kyokka ng'ekiro bakola nabo emirimu gy'ebyokwerinda.
 
 N'agamba nti mukugezaako okumalawo okusoomoozeebwa kwe balina kye bavudde basalawo okwegatta baggyemu abeenyigira mu bumenyi bw'amateeka n'abo ababavumaganyisa nga bagenda kulaba ga basala amagezi okwekulaakulanya.
 
Minisita omubeezi ow'ebyengudo Gen. Katumba Wamala eyabade omugenyi omukulu yategeezezza nga bakanyama bwe babade babamanyidde mu kukola effujjo n'okwetaba mu ntalo. N'agamba nti engeri gye basazeewo okwegatta bagenda kubatendeka mu byokwerinda kibayambe okukuuma abantu nga tebakozesa mmundu.
Yabasabye okutandikawo ekibiina kya SACCO nga gavumenti mw'ejja okuyita okubakulaakulanya.
 
Gen. Salim Saleh yabawade obukadde 100 era Katumba  n'abasaba abakulembeze baabwe okubeera abalambulukufu nga baddukanya ekibiina kyabwe. Maj.Gen Elly Kayanja ye muyima w'ekibiina kino era yabasabye okubeera n'empisa. ennungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...