TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ngenda kulaba ng'abavubuka ba Ghetto bafuna emirimu - Omuyimbi Kusaasira

Ngenda kulaba ng'abavubuka ba Ghetto bafuna emirimu - Omuyimbi Kusaasira

Added 30th October 2019

Kusasira agambye nti abavubuka naddala ababeera mu Ghetto balina okusoomoozebwa kungi nga kino agenda kukikwatako okulaba nga waakiri balina emirimu egibawanirira bakomye okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

 Kusasira (ku kkono) ng'atongoza ekibiina kya MAU. Ku ddyo ye Sheikh Gugwa.

Kusasira (ku kkono) ng'atongoza ekibiina kya MAU. Ku ddyo ye Sheikh Gugwa.

Bya PETER SSAAVA

OMUYIMBI Catherine Kusaasira atandikiddewo okukola emirimu gye oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okumulonda ku kifo ky'omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Kampala.

Kusaasira abadde ku Sharing Hall e Nsambya bw'abadde atongoza ekibiina ky'abavubuka Abasiraamu ekya Muslim Ambassadors Uganda (MAU) ategeezezza nti yalondeddwa okukola ku mbeera z'abantu okuba nga zikyuka.

Asabye abavubuka okukomya okwekalakaasa kuba embeera eno erese bangi nga bafiiriddwa obulamu bwabwe ate nga n'abalala tebalina magoba ge bafuna mu kwekalakaasa.

Agambye nti abavubuka naddala ababeera mu Ghetto balina okusoomoozebwa kungi nga kino agenda kukikwatako okulaba nga waakiri balina emirimu egibawanirira okubaako kye bayingiza bakomye okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Akkaatirizza  nti nga 2021 tegunnatuuka, ayagala kulaba nga tewakyali muvubuka yeekalakasa okuggyako okulowooza ku kukola ssente n'okwekulaakulanya.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....