TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde basabiddwa okwewala ebikolwa eby'okweraguza okusobozesa abaana baabwe okuyita ebibuuzo

Abazadde basabiddwa okwewala ebikolwa eby'okweraguza okusobozesa abaana baabwe okuyita ebibuuzo

Added 30th October 2019

Temuyingiza baana bammwe abagenda okukola ebibuuzo mu ndagaano ze mulyejjusa mudda

 Abazadde nga basabira abaana baabwe

Abazadde nga basabira abaana baabwe

Bya Joanita Nakatte

Abazadde bakubiriziddwa okwewala ebikolwa eby'okweraguza n'okubitunuza mu baana baabwe naddala abo abagenda okutuula ebibuuzo byabwe eby'akamalirizo.

Bino byayogeddwa Rev. Ronald Lutwama, omusumba wa Lugazi Town Church ku mukolo ogwategekeddwa ku ssomero lya St. Johns Primary School ogw'okusabira abayizi ab'ekibiina ekyomusanvu, n'alabula abazadde ng'ebikolwa bino bwe bitabangula obwongo bw'abaana baabwe ekivaako ebiseera byabwe eby'omu maaso okutaataaganyizibwa.

 ev onald utwama Rev. Ronald Lutwama ng'abuulira mu kusabira abayizi ab'ekyomusanvu

 

"Abaana bano bagenda kukola ebibuuzo naye akaseera kano akasigaddeyo nsaba abazadde bakakozese okwekwata ku Katonda nga bamusaba era bamwesige asobole okuyisa abaana baabwe, nsaba baleme okuyingiza abaana baabwe mu ndagaano ze banejjusa mu maaso ng'obulamu bw'abaana baabwe bukyusiddwa," omusumba Lutwama bwe yabuuliridde.

Yabasabye okubeewaza ebintu eby'amasitaani okuli okubambaza yirizi, okubawa obuti n'ebintu ebifaananako bwebityo n'abategeeza nti, Katonda yekka y'amanyi obuwanguzi bw'agenda okubatuusaako.

Omusumba Lutwama yakuutidde abazadde okuba abeegendereza n'ebintu bye bakolera mu maaso g'abaana baabwe olw'ensonga nti, ebimu ku byo by'ebivuddeko abaana b'eggwanga okweyisa mu ngeri etesaana n'okubavumaganya ekivuddeko n'abamu okufuna endwadde nga kookolo afuuse ekizibu mu kutirimbula abakadde n'abato.

 mubaka uyanja senyonja ngayogera eri abazadde nabayizi Omubaka Muyanja Ssenyonja ng'ayogera eri abazadde n'abayizi

 

"Abazadde naddala abakyala mulina ebintu bye mukola ebitasaanidde mu maaso g'abaana bammwe ng'okwekolako, okwambala enkunamyo n'ebirala ebibasikiriza era ebibaggya ku mulamwa ebibaviirako okukola ensobi. Mufube okulaba nga nabyo mubyewala," Lutwama bwe yagambye.

Omubaka Mukono South, Johnson Muyanja Ssenyonga y'asabye abayizi okusooka okwetegereza obulungi ebibuuzo basobole okubiddamu mu butuufu bwabyo n'akuutira abazadde okulaba ng'abaana baabwe babawa obudde obumala mu kiseera ky'oluwummula nga babuulirira nga kw'ogasse n'okubagunjula basobole okukula n'empisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...