TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze ba bodaboda basonze ku ttemu we liva

Abakulembeze ba bodaboda basonze ku ttemu we liva

Added 30th October 2019

ABAKULEMBEZE ba boodabooda nabo ekizibu ky’okutereeza omulimu gwabwe kibasuza tebeebase.

 Habiyaremye

Habiyaremye

Joseph Habiyaremye, ssentebe wa Kampala Central Division Boodabooda Riders Co-operative Society, yagambye nti nabo basula ku bunkeenke olw'abantu abatategeerekeka gye bava abayingira omulimu gwabwe buli lunaku n'ebigendererwa ebitamanyiddwa.

Yagambye nti abantu bano empisa zaabwe zibeera tezimanyiddwa, obukugu bwabwe mu kuvuga ppikippiki tewali abumanyi, nga ne we basinziira okukola tewali amanyiiwo.

Alumiriza nti abantu bano bebavaako envuga embi ereetedde obulamu bw'abantu okutokomoka, ate era be bavaamu abamenyi b'amateeka kubanga kibeera kizibu okubalondoola olw'obutaba na bibakwatako biruamu.

Yakiikidde poliisi ensingo olw'okusiba abantu bwe bati mu mulimu gwabwe kubanga mu kusooka baagezaako nnyo okubakwata nga babatwalira poliisi, wabula ng'ebata ne baddamu okukola nga tewali abakuba ku mukono.

Yawadde gavumenti amagezi nti bw'eba eyagala okutereeza boodabooda, obuvunaanyizibwa ebukwase bo bennyini kubanga omulimu guno bagumanyi nnyo.

"Buli wa boodabooda alina okuba ne siteegi waakolera ate ng'ebimukwatako byonna biwandiikiddwa bulungi.

Abaagala okuyingira omulimu guno nabo balina okubaako siteegi we batandikira ne baggyibwako ebiwandiiko ebibakwatako nga tebannatandika kukola," Habiyaremye bwe yagambye.

Yayongeddeko nti abantu abategekeddwa bwe bati ne batandika n'okukola ebibiina by'okutereka n'okwewola, kizibu ate okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka kubanga babeera n'ekigendererwa ate babeera bakimanyi nti ebibonerezo bikambwe.

Yannyonnyodde nti bo mu kibiina kyabwe beefubyeko okulaba nga bayigiriza bammemba baabwe okuvuga obulungi ku luguudo, n'okubafunira ebiwandiiko ebibakkiriza okuvuga ppikippiki.

Wabula agamba nti wadde kino bakikola naye enkyukakyuka gye kireeta ntono nnyo kubanga abasinga obungi tebafuna kutendekebwa mu kibuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....