
KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde okutandika enkya ku Lwokutaano etandise kaweefube w'okutumbula embeera z'abaana. Kaweefube ono waakumala emyezi esatu ng'atuumiddwa ‘Live Your Dream campaign' (ekivvuunulwa; Tuukiriza ekirooto kyo).
Kampeyini eno ewagiddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw'abantu mu nsi yonna ekya United Nations Population Fund (UNFPA) ekirina ebiruubirirwa okuli; okuzaala abaana ab'ekigero, okukomya abakyala abafa nga bazaala awamu n'okukomya ebikolwa by'okutulugunya abakazi n'abawala.
Abantu baabulijjo bagenda kuweebwa omukisa okuwa ebirowoozo ku by'okuzaala n'ebikwata ku ddembe lyabwe kiyambe abavunaanyizibwa okukola ku bizibu ebyo.
Omubaka w'ekitongole kya UNFPA mu Uganda, Alain Sibenaler yagambye nti alina okukkiriza nti kaweefube ono ajja kubasobozesa okutuukiriza ebirooto byabwe. Kampeyini eno ekwatagana bulungi n'ekimu ku bigendererwa bya Vision Group eky'okusitula embeera z'abantu omuli n'ebyobulamu.
We gunaatuukira omwaka 2040, Uganda esuubirwa okubeera ng'ewezezza abantu obukadde 61, ng'abantu tebakyazaala nnyo nga n'omuwendo gw'abantu abakola gweyongedde. Kyokka embeera eno obutanyiga bantu kijja kusinziira ku ngeri Gavumenti gye yeetegeseemu. Kino kijja kwetaagisa gavumenti okwongera ssente mu byobulamu n'okukomya ebikolwa by'obuwangwa ebirabika nga bya mutawaana.
Uganda y'emu ku nsi ezisingamu abavubuka abafuna ennyo embuto mu mawanga agali wansi w'eddungu Sahara. Okunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya Uganda Demographic Health Survey 2016 kulaga nti omuwala omu ku bataano abali wakati w'emyaka 15 ne 19 bafumbo nga ku bano omu ku buli bana yatandika dda okuzaala.
Wadde ng'omuwendo gw'abantu abazaala nga bukyali gukendedde okuva ku bitundu 43 mu 1995 okutuuka ku bantu 25 mu 2011, mu Uganda tewannaba kulaga njawulo y'amaanyi mu myaka 10 egiyise wadde nga waliwo kaweefube azze akolebwa Gavumenti n'abantu abalala.
Catherine Mwesigwa, amyuka akulira olupapula lwa New Vision yagambye nti kampeyini eyatongozeddwa yaakuyamba abaana n'abantu bonna okukwatagana basalire wamu amagezi ku ngeri y'okugonjoola ebizibu ebibanyiga.
Mwesigwa yagambye nti abawala abakyali abato balina kubeera mu ssomero so si kuzaala, balina obutafumbizibwa awamu n'obutabakolako bikolwa bya kubakecula mu bintu by'ekyama.
Yasabye abawala bonna n'abali mu nkambi z'abanoonyi b'obubudamu bawagirwe basobole okwenyigira mu nkulaakulana y'eggwanga. Mu kampeyni eno abantu bajja kulonda abantu be balaba abafubye okukyusa abaana abato mu ngeri ezenjawulo. Ebikwata ku bazira omuli abasajja n'abakazi bijja kuba biwandiikibwako mu myezi esatu