
Kenzo (ku kkono) ng'ayogera mu lukungaana lw'abannamawulire.
Bya Musasi Waffe
OMUYIMBI Eddy Kenzo ategeezezza nti singa aba ayitiddwa mu kwanjula kw'eyali muganzi we, omuyimbi Rema Namakula ajja kugenda mu mutima mulungi abeererewo mukwano gwe gwayise ow'olubeerera.
"Mmanyi Rema gawuni gye yali ayagala, kati agenda kugifuna era musanyukirako. Tewali amanyi Rema kusinga nze abadde naye emyaka etaano nga tulya ffena era nga tusula ffena" Kenzo bwe yategeezezza.

Bino bibadde mu lukungaana lw'abannamawulire Kenzo lwatuuzizza ku wooteeri ya Mestil mu Kampala.
Ndi muwuulu, atabuddwa, alina omutima omumenyefu naye sinoonya kubanga nkyali munyivu' Kenzo bwe yategeezezza.
Kenzo agambye kyaliko kati kwe kubeera ng'agatta famire ye, lwakuba essaawa eno muwala we Amaal Musuuza takyamufuna bulungi, olw'okuba nti tebamukkiriza kumutuukako engeri gye yafuna taata omupya.
Omukolo gw'okukyala kwa Rema mu bujjuvu