TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalumbye Museveni alumirizza Kusasira okumukuba ekikono

Eyalumbye Museveni alumirizza Kusasira okumukuba ekikono

Added 31st October 2019

Eyalumbye Museveni alumirizza Kusasira okumukuba ekikono

 Pulezidenti ng’akoma ku bakuumi baleke Muhai.

Pulezidenti ng’akoma ku bakuumi baleke Muhai.

OMUKAZI eyagenze mu maaso ga Pulezidenti okumusindira ennaku akukkulumidde omuyimbi Catherine Kusasira nti y'azze amulemesa okutuuka eri omukulu.

Betty Muhai amanyiddwa nga "Maama Janat" ye yagenze mu maaso ga Pulezidenti ng'amaziga gamuttulukuka bwe yabadde ku kasaawe e Katwe ng'alambula abavubuka b'omu Gheto.

Muhai omutuuze w'e Ndejje mu Lugga zzooni mu Makindye nga yabadde tasalikako musale yategeezezza bw'akooye okuwuddiisibwa nga omwana omuto so nga omukulembeze yamusuubiza ebintu by'atannatuukiriza.

‘‘Catherine Kusasira aludde ng'annimba bw'agenda okuntwala ansisinkanye Pulezidenti mmusindire ennaku yange kyokka anneemululako n'agenda nga sitegedde," Muhai bwe yategeezezza.

Yagambye nti ku ntandikwa y'omwaka guno yasisinkana Kusasira ne bakkaanya bagende bombi ku Easter amutuuse e Rwakitula mu maka ga Pulezidenti. Yagambye nti bwe yakubira Kusasira essimu yamugumya bwe yali ajja okumutuusa era n'amusaba amusange ku mulyango oguyingira mu maka g'omukulu bayingirire naye kyokka yamubuzaabuza ne n'amulekawo.

Ayongera n'ategeeza nti ye talina kinene kya nnyo ky'ayagaza Museveni wabula ayagala atuukirize ebyo by'azze amusuubiza ng'okumuzimbira ennyumba. ‘‘Museveni yanzikakkanyizza n'ankwasa omuyambi we Molly Kamukama.

Siyinza kudaaga ng'abalala bali bulungi. Nja kumunoonya okutuusa nga mpeereddwa ennyumba ne bye yansuubiza ebirala.'' Muhai bwe yakkaatirizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...