TOP

Bawanjagidde KCCA lwa kasasiro wa nseenene

Added 31st October 2019

Abakulembeze n'abatuuze ba Kimwanyi Zooni mu Katanga e Wandegeya bawanjagidde KCCA ebataase ku kasasiro alimu ebyoya by’enseenene kubanga enkuba bw’ebitonnyamu ekivundu kibuutikira ekyalo.

 Thomas Bagonza (ku ddyo) ssentebe wa Kimwanyi.

Thomas Bagonza (ku ddyo) ssentebe wa Kimwanyi.

 

ABAKULEMBEZE n'abatuuze ba Kimwanyi Zooni mu Katanga e Wandegeya mu Munisipaali y'e Kawempe bawanjagidde KCCA ebataase ku kasasiro alimu ebyoya by'enseenene kubanga enkuba bw'ebitonnyamu ekivundu kibuutikira ekyalo. 

 

Ssentebe wa L.C.1 Thomas Bagonza yagambye nti sizoni y'ensenene bw'etuuka abatuuze abasinga okuzikongola bagufuula mulimu okusobola okuzifunamu era tebasobola kuziwera mu kyalo n'asaba KCCA ebaweereze emmotoka ezitwala ebyoya waakiri emirundi ebiri mu wiiki.

 

Bagonza alaze obweraliikirivu nti singa KCCA erwawo okubagyamu kasasiro alimu ebyoya by'ensenene, abatuuze boolekedde okulwala endwadde nga kolera eziva ku bucaafu. 

 

"Ensenene bwe ziyingira mu Kampala abatuuze baffe bava ku mirimu gw'okususa kawo n'ebijanjaalo ne badda mu kukongola ensenene kubanga ab'ensenene babasasula ssente eziwerako. Ebyoya bwe byegattamu enkuba etonnya ennaku zino biyinza okulwaza abatuuze" Bagonza bwe yategeezezza ku Lwokuna.

 

Bagonza yagambye nti basazeewo okuteekawo bulungibwansi ow'obuwaze buli Lwamukaaga olusembayo mu mwezi nga buli mutuuze alina okuggala bizinensi gy'akola n'amwenyigiramu nga bataddewo n'enkolo endala gye batuumye ‘longoosa wookolera'.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...